TOP

Akatale ka Owino kati kakuumwa poliisi

Added 18th September 2016

Akatale ka Owino kati kakuumwa poliisi

 Abaserikale ku Owino

Abaserikale ku Owino

ABASUUBUZI mu katale ka St. Balikuddembe baweereddwa obukuumi bwa poliisi olw’obunkenke obuliwo oluvannyuma lwa nsalessale aba Bbanka ya DFCU gwe baabawa okuggwaako nga kati ekiddako ye bbanka okubowa ettaka ly’omu Kisenyi lye baasingayo.

Abasuubuzi batuuzizza olukiiko ku Lwokutaano bateme empenda ez’okusasula ebbanja lya bbanka ne luyiika wakti mu kuwaanyisiganyizza ebisongovu ng’abamu balangira KCCA okubalemesa okusolooza empooza ate abalala ne balumba abakulembeze nti abamu bakolagana n’aba bbanka batunde ettaka lyabwe.

Omumyuka wa ssentebe w’akatale Livingstone Ssenyonjo yayanjulidde abasuubuzi nti ebbanja libatudde mu kifuba era bbanka yabaweerezza ebiragiro okutunda ettaka lino ku nnyondo. Kino kyasaanudde abamu ku basuubuzi abaludde nga basonda ssente ne bategeeza nti tebagenda kukkiriza Bbanka kutwala ttaka lyabwe okuggyako nga basoose kunnyonyolwa ssente bulijjo ze basasula gye zigenda.

Omu ku bavubuka yagambye nti nga tebannaba kulumba KCCA ku by’okubalemesa okusasula looni ya Bbanka, abakulembeze basooke babannyonnyole ekituufu ku ssente. Banne baamuwagidde ne bassa abakulembeze ku nninga babalage ennyingiza n’ensaasaanya ya ssente ezikung’aanyizibwa mu katale.

Kyokka omwogezi w’akatale Wilberforce Mubiru yannyonyodde nti buli nnusu ekung’aanyizibwa mu katale okuli ez’empooza n’eza pulojekiti zikwatibwa bulungi . “Buli ssente ezikung’aanyizibwa bwe tumala okuggyako ezikozeseddwa naddala okusasula kasasiro, abakozi ne kalonda yenna nga tuzissa mu bbanka ate olutuuka ku akawunti yaffe mu bbanka baziggyako butereevu ne zikendeeza ku bbanja.” Mubiru bwe yagambye.

Yategeezezza nti ekizibu kivudde ku KCCA okubaguza ettaka ery’empewo ne bamala ebbanga nga tebabawa byapa ate nga ssente obuwumbi buna n’obukadde 200 bagibuwa dda. Yagambye nti kaweefube kati gwe baliko wa kuwaliriza KCCA ebaddize ssente ezo zibayambe okusasula ebbanja nga bbanka tennatwala ttaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...