TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • 'Naliwo nga Lt. Col. Nasur asogga taata ekiso mu bulago'

'Naliwo nga Lt. Col. Nasur asogga taata ekiso mu bulago'

Added 25th September 2016

Wayise emyaka 44 bukya eyali meeya w’e Masaka, JosephWaligembe attibwa Lt. Col. Nasur Abdallah mu nkambi e Kasijjagirwa bwe yamutunga ekiso. W’osomera bino nga Nasur baamuta alya butaala.

Thomas Ntale eyalaba Nasur ng’atta kitaawe. Ku ddyo ye mugenzi Walugembe

Thomas Ntale eyalaba Nasur ng’atta kitaawe. Ku ddyo ye mugenzi Walugembe

Wayise emyaka 44 bukya eyali meeya w’e Masaka, JosephWaligembe attibwa Lt. Col. Nasur Abdallah mu nkambi e Kasijjagirwa bwe yamutunga ekiso. W’osomera bino nga Nasur baamuta alya butaala. Mu mboozi esooka ey’okufa kwa meeya ono, JohnBosoco Mulyowa azzeeyo ewa mutabani wa Walugembe eyaliwo nga batta kitaawe. Thomas Ntale eyalaba Nasur ng’atta kitaawe.

BAASOOKA kumukuba masasi mu magulu omusaayi ne gutiiriika, olwo ne bamussa mu bbuutu y’emmotoka yogaayoga mu nkambi y’amagye gye baamusoggera ebiso ebyamutta!

Omusomi wange sisinkana Thomas Ntale ng’anyumya engeri eyali Gavana wa Central Pulovinsi, Lt. Col. Nasur Abdallah gye yattamu kitaawe mu September wa 1972.

Oyinza kuwulira otya ssinga omusajja eyatemula kitaawo, owooluganda lwo oba omwana wo oyo gw’oyagala ennyo nga muyisihhanya mu kibuga yeeriira kaasi, tewali amukuba ku mukono sso nga ggwe osanga omuntu wo oyo ky’ekyali ekisumuluzo ky’okukwozaako ennaku gy’olimu?

Eyo y'embeera eri ku booluganda n’abaana b’eyali Meeya w’e Masaka, Ssaalongo Francis Mary Joseph Walugembe eyattibwa ku mulembe gwa Idi Amin.

Walugembe yattibwa mu bukambwe mu September wa 1972, era eyamutta, Gavana Abdallah Nasur eyali atwala Central Pulovinsi omwali ne disitulikiti ya South Buganda etwala Masaka yasingisibwa omusango gw’obutemu mu 1982 ne bamusalira kya kuwanikibwa ku kalabba.

Kyokka Pulezidenti Museveni yamusonyiwa akalabba nga September 10, 2001 oluvannyuma lw’emyaka 22 mu kkomera e Luzira n’ateebwa era yeeriira butaala.

Alina amaka e Bombo, essundiro ly’amafuta e Bwaise n’amayumba agapangisibwa ag’omulembe e Kansanga, wamu ne bizinensi endala nnyingi.

Lt. Col. Nasur Abdallah ( ku kkono) kati alya butaala. Wano yali ku mukolo ogumu.

Kwe kugamba ssente w’eri! Kati ate kubamu akafaananyi ng’omusajja eyatta kitaawo mugagga ffugge nga Lt. Col. Nasur Abdallah kyokka nga kitaawo bye yabalekera abanene baabibba, ggwe n’osigala ng’oli mwavu lucoolo! Kati nno eyo y’embeera abaana ba Walugembe gye balimu.

Taata baamutt ndaba

‘’Nali nsomesa e Kalangala mu Ssese ebiseera ebyo era nzijukira taata twali tugenda naye antwaleko ng’asuubira okusula e Bukakata kuba yalinayo amayumba.

Twasimbula okuva eka ne tuyita ku loodibbulooka nnyingi nga n’eyasembayo yali Kijjabwemi kyokka yonna twetwafunayo buzibu.

Kyokka tuba tutuuse e Masaka nga twakayita ku ggalagi ya Naluddugavu ku Burton Street, twasanga abantu ne bamuyimiriza.

Baamugamba nti beewuunya engeri gy’akyali omulamu ng’amawulire obwedda gayita nti baali bamusse.

Taata yabagumya nti ddala akyali mulamu era talina buzibu bwonna , naye nze namulaba ng’ayogera kubagumya naye yali atidde!

Tuba tutuuka ku kkubo eridda mu Nyendo, taata yalaba mmotokka ya mukwano gwe Lwebuga ng’erimu n’abaserikale naye ng’edduka nnyo ate ng’edda mu Nyendo.

Yaweta mangu n’agigoberera kyokka n’etubulirako mu Nyendo. Yanzigya mu mmotoka awo ku kkubo eridda e Bukakata mu Nyendo nga ku ssundiro ly’amafuta n’andagira nninye takisi hhende e Ssese kuba ye olugendo lw’e Bukakata yali alusazizzaamu.

Yavuga nga yeeyongerayo e Kitovu ku kigo, nange mba nkyayimiridde awo mmotokka eyali etugoba n’etuuka ne muvaamu abasajja ne babuuza omukyala eyali awo ku kkubo ng’alima nti otulabiddeko mmotoka emmyuufu wano?

Oyo yabalagirira nti yali eyambuse ngulu mu kigo, baasimbula ne bambukayo. Waayita akaseera katono nnyo ne mpulira amasasi abiri nga gavuga era mangu ago nadduka ne nnyambuka ku kigo era nalaba taata ng’alaajanira wansi, avaamu omusaayi mungi.

Oluvannyuma lw’okumukuba amasasi mu magulu ng’agaanyi okuyingira bbuutu y’emmotoka yalwa edda n’agiyingira.

Nafuna mmotoka ne ngipangisa ne ngoberera etutte taata okutuuka ku mulyango gw’enkambi y’amagye e Kasijjagirwa era nasanga taata bamaze okumuggya mu mmotoka nga bamusambasamba.

Waayita akaseera katono mmotoka omwali mutambulira Lt. Col. Nasur, ebiseera ebyo eyali akulira enkambi eyo n’etuuka.

Olw’okuba Nasur yali mukwano gwa kitaffe nnyo era yajjanga n’eka ne ku bubaga taata bwe yategekanga, abajaasi olwamulaba ne beesooza nga balowooza nti Nasur k’azze Walugembe awonye.

Neewuunya Nasur, olwalaba ku taata yayogera ekigambo kimu nti, ‘Walugembe soma essaala yo esembayo!’

Yasowolayo ekiso n’akisogga taata mu bulago nga ndaba era olwakimusikamu taata n’afuuwa omusaayi ng’eno abajaasi bwe bamusambasamba n’okumuwalula ku ttaka.

Ntale ( wakati) ne baganda be, Fred Sserwadda ( ku kkono) ne Francis Kakinda.

 

Nakimanya nti Nasur bw’andaba nange obulamu buyinza okuba mu matigga ne badduka kiwalazima, ne mpita mu bukubo obw’ebbali okutuuka eka ne mbategeeza ekibaddewo.

Waayita akaseera katono ne Lwebuga oli eyatwala abaserikale ne bakwata kitange ate n’atuuka nga yeefuula azze okubika n’okunakuwalira awamu naffe kyokka nga takimanyi nti twakimanya nti ye yapanga olukwe n’amuleetera abaserikale ng’amutaddeko nti yalina abayeekera b’asuza mu maka ge mu Nyendo.

Oluvannyuma nakimanya nti taata yali yawola Lwebuga ensimbi nnyingi nga zino ze yatya okumusasula n’asalawo okumusibako eky’okukolagana n’abayeekera.

Gavumenti bwe yakyuka omu ku baserikale ye yatulagirira we baasuula omulambo gwa taata era twaguggyayo, ebisigala ne tubiziika. Lwebuga oluvannyuma yagwa eddalu era n’atandika okwogeranga mu kkubo nti ye yakola olukwe olwatta Walugembe.” Obujulizi bwa Ntale era yabuwa ne mu Kkooti kwe yasinziira okusingisa Nasur omusango gw’okutta Walugembe.

Ntale ne banne beevuma Pulezidenti Museveni eyata omutemu eyatemula kitaabwe ate ne beewuunya n’engeri eyali omumyuka wa Pulezidenti Polof. Gilbert Baalibaseka Bukenya gye yabatuukirira n’abakuba akalimi nti Gavumenti yali yaakubaliyirira naye nga na buli kati tekikolanga.

Kyokka amaziba famire ya Walumbe yandibadde enyolwa olw’engeri bannaddiini abanene mu Uganda gye baasisinkana Puledenti Museveni ne bamusaba ayimbule Nasur. Nasur yasangibwa Kakamega mu Kenya,mu 1979 ne bamukwata poliisi y’e Kenya n’emuzza e Uganda okuwerennemba n’emisango gy’obutemu.

Yagezaako enfunda eziwera okujulira omusango ne birema era yali waakuwanikibwa ku kalabba.

Na buli kati Nasur agamba nti tattanga ku Walugembe era nga bwe yassaawo obukadde bw’ensimbi 10 ziwangulwe alivaayo n’amulumiriza nti yaliisa abantu essapatu, agamba tewali ayinza kumulumiriza nti yatta Walugembe.

Mu December wa 1999, bannaddiini okwali Kalidinaali Emmanuel Wamala, Ssaabalabirizi Mpalanyi Nkoyooyo ne Al-hajji Idris Kaseneene bwe baava e Luzira okukyalira ku basibe, baggukira wa Pulezidenti ne bamusaba ate Nasur, Ali Fadhul n’abasibe abalala abaali baludde e Luzira ku kibonerezo ky’okuwanikibwa ku kalabba.

Nasur yaliko ssentebe w’akakiiko k’ebyemizannyo mu ggwanga aka National Council of Sports mu myaka gya 1970 era y’omu ku bakungu abaawerekera Uganda Cranes mu 1978 bwe yali egenda okwetaba mu mpaka za Afrika e Ghana, bannannyinimu bamale batukube ggoolo 2-1 ku fayinolo.

Amaka g’omugenzi Walugembe agali ku kyalo Kisoso e Kyabakuza.

 

Tuyinza okugamba nti Nasur ye w’omukisa, kuba kati alya butaala, ne Cranes yazzeeyo mu mpaka ze zimu oluvannyuma lw’emyaka 38!

Baatusiba kiwaani

Omu ku baana ba Walugembe ayitibwa Francis Kakinda Walugembe abeera e Kampala agamba nti bafubye okutambula mu ofiisi zonna okujjukiza abakulu nti Nasur baamuta naye baali babasuubizza okubaliyirira kyokka byonna byagaana.

‘’Ffe tulina okwekengera nti ssente z’okutuliyirira Gavumenti erabika yazifulumya ne wabaawo abakungu baayo abaazirya.

Tufubye okwekubira enduulu n’okugezaako okusisinkana Pulezidenti Museveni tumunnyonnyole ensonga zino kyokka tulemesebwa’.

Nagendako ewa Maj. Nakalema akola mu maka g’Obwapulezidenti kyokka empapula yazingobya. Bangi ku be tutuuseeko ne kitaffe yabayamba okutuuka we bali kyokka ffe batusenza luti.

Ebyobugagga bya kitaffe baabibba, bangi okusoma kwakoma awo, Walugembe eyali omuloodi abaana be be babonaabona!’’ Kakinda bwe yagasseeko.

Walugembe yalina amaka e KabaaleKisoso ku nkingizzi z’akabuga k’e Kyabakuza mu kibuga Masaka.

Yali musajja muloodi era olw’endabika ye nga takwana bakazi aweneenya mbwa! Yadde yalina omukyala omukulu Nnaalongo Imelda Nansamba kyokka we yafiira yaleka abakyala bangi n’abaana abatamanyiddwa muwendo!

Walugembe yali musuubuzi, yalina ebyuma ebisunsula emmwaanyi bingi n’amalundiro g’ente mu bitundu eby’enjawulo.

Wakati wa 1961-1965 yali Minisita wa Gavumenti ezeebitundu e Mmengo,yali mmemba w’ekibiina kya KY era bwe kyatta omukago ne UPC, Walugembe y’omu ku bakungu b’e Mmengo abaakulembera okwaniriza Obote oluvannyuma eyayingizibwa ne mu bika by’Abaganda n’aweebwa erinnya Bwete.

Yali muganzi nnyo eri Kabaka ate n’abasuubuzi Abayindi e Masaka baamuyamba okulya obwameeya bw’e Masaka wakati wa 1968-1971.

Mu maka ge e Kisoso yali yawunda ennyumba nga yagizimbako kalina gye yategekeranga obubaga. Essanyu nga bwe litabeerera, Idi Amin bwe yawamba Gavumenti ya Obote,Walugembe baakimuteekako nti yali akolagana n’ebibiina by’abayeekera.

Era mu September wa 1972 Walugembe yali atandise okwekengera obulamu bwe. Yattemulwa mu ntiisa era mutabani we Tom Ntale yaliwo nga kitaawe atemulwa emisana ttuku!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...