TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Baabano abayoola ssente mu kufaanana abayimbi abanene

Baabano abayoola ssente mu kufaanana abayimbi abanene

Added 25th September 2016

BWE beetunuulira nga bafaanana abayimbi ab’amannya, ne basalawo okukoppa n’ennyambala yaabwe, amaloboozi n’emisono gy’enviiri nga kati bye bakozesa okukola ssente.

BWE beetunuulira nga bafaanana abayimbi ab’amannya, ne basalawo okukoppa n’ennyambala yaabwe, amaloboozi n’emisono gy’enviiri nga kati bye bakozesa okukola ssente.

Bw’obawulira nga bayimba nga tobalabyeko oyinza okulowooza nti Bobi Wine, Chameleone oba Ziza Bafana be balya mu ndago.

Bano be bayimbi abafaanana era abatambulira mu bisiikirize by’abayimbi abanene ng’era okubafaanana mwe baggya ekigulira magala eddiba ng’eno bwe bakuza ebitone byabwe.

Abavubuka bano bwe balinnya siteegi ne batandika okuyimba, bayinza okuvaako nga totegedde nti obadde ocamukira ku biwaani.

Si be bayimbi ab’amannya bali b’omanyi. Bano babeera beeyiiya okulwanyisa embeera y’obwavu n’okwagala okufuuka abayimbi ab’amannya era bano wammanga be bamu ku bakozesa embeera eno okwebeezaawo.

Ronald Kayanja afaanana Chameleone

Yeeyita Black J ng’abeera Makindye ku Mubarak. Muwagizi wa Chameleone lukulwe ng’era yasooka kugeegeenya nnyimba ze mu kaliyoki.

Ne bwe yatandika okuyimba ennyimba ezize, abantu baasigala bamusaba nnyimba za Chameleone.

Ono yasibanga ebiviiri by’ekiraasi okusinziira ku Chameleone zaasibye. Wabula gye buvuddeko yalabye Chamilli asazeeko naye n’asalako okumufaanana.

Agamba nti ezimu ku nsonga ezaamulemesa okusoma kwe kuba omuwagizi wa Chameleone nga buli we yawuliranga ekivvulu kye ng’atoloka ku ssomero n’agendayo.

 

Ate ssente za ffiizi ze yakozesanga okugenda mu bidongo n’ezimu n’azitwala mu situdiyo okukwata ennyimba.

Kati alina ennyimba ezize okuli: Jenina, Tebasiima n’endala ng’ennyimba za Chameleone ze yageegeenya ze zaasinga okumutunda.

Yategeezezza nti okufaanana Chameleone takyejjusa kubanga kati abategesi b’ebivvulu batandise okumukozesa era buli amwetaaga amusasula 300,000/-.

‘‘Gye buvuddeko nafuna omukisa ne nsisinkana Chameleone ku bbaala ya Laftas n’ansanyukira. Yampa 150,000/- n’ennamba y’omu ku bantu be mmukubireko bwe mba nnina ekizibu kyonna’’.

Robert Makumbi tomwawula na Bobi Wine

Kayanja atambula ne munne Robert Makumbi eyeeyita Bobi Wine. Ono gw’avuganya naye mu kuyimba nga bw’olaba Chameleone bw’avuganya Bobi Wine era buli omu ayimba nnyimba za muyimbi we.

Baatandiseewo n’ekibiina kya Redcross mwe beegattira era bamanyi okutegeka ebivvulu ‘‘Chamilli ne Bobi ani asinga’’ ne beekolera ssente.

Makumbi (Bobi Wine) abeera Makindye ku Madirisa ng’ayimba Ragga. Ku siteegi yeeyita Rasita Didi ng’alina ennyimba omuli: Zulayika, Ekyana ky’omu Africa, Jjajja wandeka mu kyalon’endala.

 

Agamba lwe yasisinkana Bobi Wine yamubuuza nnyo ku by’obuzaale bwe ng’alowooza nti ayinza okuba muganda we kyokka nga tebeemanyi.

Okumanya kyamuyitirirako, yatuuka n’okumusaba bagende ku musaayi nti kitaawe Muzeeyi Ssentamu yandiba nga bano be baana be yafa tayanjudde.

Makumbi agamba muwagizi wa Bobi Wine lukulwe. Olw’okumwagala ng’ate amufaanana yayimbanga ennyimba ze kubanga zonna yali azimanyi bulungi.

Abantu baatandika okumufaanaganya Bobi n’okumubuuza gye bamuzaala era bwe yafuna ekifaananyi kya Bobi yakiteeka n’ekikye n’alaba nga bafaanagana.

Kayanja ne Makumbi okumanya omuziki bagwagadde nnyo, basazeewo okukola oluyimba lwe batuumye ‘‘Tebasiima’’.

Shakur Wasswa ne David Lutalo wandibayita abalongo

Wasswa abeera Ntebe Kawuku nga ddereeva wa sipensulo. Bw’atandika okuyimba kizibu okumwawula ku David Lutalo anti n’akalevu akasala nga Lutalo.

 

“Nze nali nvuga sipensulo yange kyokka ng’abasaabaze baηηamba nti nfaanana Lutalo. Kino kyanviirako okutandika okumwagala n’okuyimba ennyimba ze era mu mmotoka yange tosangamu nnyimba ndala.

Olweggulo nagendanga mu bbaala n’ebifo ebisanyukirwamu okuyimba naye ng’okusinga ngegeenya nnyimba za Lutalo.

Mu kusooka nayimbiranga ccupa za sooda na bitole bya mmere wabula abawagizi bwe beeyongera nga n’abategesi b’ebivvulu n’amabaala bannoonya, kwe kutandika okusaba ssente.

Davin War lye linnya lye nkozesa ku siteegi. Omwaka guno nafuna omukisa okusisinkana David Lutalo ku Nyondo Pub.

Abawagizi bange be bannyanjula eri Lutalo ne bamugamba nti waatabeera nze mbabeesabeesa nga nkozesa ennyimba ze. Natya nga ndowooza agenda kuyomba kyokka yasanyuka busanyusi ne tuwanyisiganya ne nnamba z’essimu.

Mugwanya Ono yeeyita Aerial.

Talima kambugu ne Moze Radio owa Goodlyfe kubanga ennyimba zaabwe ze yatandikirako okugeegeenya n’afuna ettutumu.

Lumu Radio yamugwaako mu bbaala ya Venom e Kabalagala n’amukuba bubi.

Aerial yeekaza ηηagamba nti newankubadde akyali muyimbi muto, Radio amwetaaga kubanga teri leediyo ekola nga terina ‘eriyo’.

 

Waliwo n’abayimbi abakoppa sitayiro za bannaabwe omuli n’amaloboozi nga bw’ayimba oba okwogera kikutwalira obudde okumwawula ku muyimbi gw’afaanana.

Innocent Kafeero abangi gwe baakazaako erya Tamale Mirundi. Ono ayogera ageegeenya omuwabuzi wa Pulezidenti ekimufudde omuloodi nga bamupangisa mu bivvulu n’emikolo okusanyusa abantu.

General oks

Agamba nti basibuka ku kyalo kye kimu ne Gravity Omutujju wabula mu kibuga abeera Makindye ewa Kuleekaana.

Agamba nti si muyimbi wabula y’omu ku bakwata ennyimba z’abayimbi ku ntambi ne vidiyo z’ennyimba.

Mu mirimu gy’akola gye yasanga abaamusomera ddiiru y’okutandika okuyimba ng’ayita mu kifaananyi kya Gravity Omutujju bwatyo n’atandika okusiba enviiri. Mu bbaala ayimbira wakati wa 50,000/- ne 100,000/-.

Waliwo abaali bantuukirira nga bampa emirimu ne mbasindika ewa Gravity we twava okumanyagana.

Musa Kizito

Omuvubuka ono yeeyita Kiss Kayz nga muyimbi wa R n B wabula ng’asiba ekiswayiri olwo n’afanaanira ddala Aziz Azion.

 

Kino kimuwadde erinnya n’afuna n’ebyeyo by’okuyimba ku mikolo ng’embaga kwayimbira ennyimba za Aziz Azion n’aleka abawagizi nga bakkirizza nti ddala Aziz musajja nnyo kumbe bali ku kiwaani kya CD.

Asinga kukozesa Oxygen ne Nkuumira. Alina ezize okuli Sinorita ne Bitimatimakyokka abantu tebaazaagala era gye biggweera nga bamusabye eza Aziz Azion.

Mahad Bakal

Ono yeeyita Honarebo Vigi. Endabika ye, ennyambala n’ennyimba kizibu okumwawula ku Ziza Bafana. Wabula kino kimunyiiza kubanga muwagizi wa Bebe Cool.

 

Kyokka agamba nti afaanana Bafana mu ndabika n’okuyimba kubanga naye akuba Dance Hall.

Clever J Ono mu kutandika okuyimba yajjira mu sitayiro ya Jose Chameleone ekintu ekyamutunda. Wabula yayimbayo akabanga katono n’afuluka olw’obutaba na linnya lyetongodde.

Dennis Bitone: N’ono alya mu ngalo za Chameleone. Ayogera asaakaaza eddoboozi, okusiba ebiviiri era bwe yaddamu oluyimba lwa ‘‘Bwe wakolanga’’ olwa Elly Wamala nga kizibu okulwawula ku lwa Jose Chameleone naye lwe yaddamu.

Okutambulira mu kisiikirize tekirina buzibu Robert Ssegawa omukugu mu by’okuyimba agamba:

Okutambulira mu kisiikirize ky’omuyimbi omulala tekirina we kikoseza muntu yenna wadde muziki we mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abalondoola enkulaakulana m...

ABAKUNGU mu byenkulakulana ku lukalu lwa Africa balaze omugaso gw'okukuuma obutonde bwensi mu kaweefube w'okuddabulula...

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...