TOP

Ssabanyala awambye embuga y'eggombolola e Bugerere

Added 26th September 2016

ABANYALA bawambye embuga y’eggombolola y’omwami wa Kabaka e Bbaale Bugerere. Bategeezezza nti bagenda kukolerawo emikolo gy’okujjukira bwe giweze emyaka 8 bukya balonda Ssabanyala.

 Maj. (Rtd) Baker Kimeze ye Ssabanyala

Maj. (Rtd) Baker Kimeze ye Ssabanyala

ABANYALA bawambye embuga y’eggombolola y’omwami wa Kabaka e Bbaale Bugerere.

Bategeezezza nti bagenda kukolerawo emikolo gy’okujjukira bwe giweze emyaka 8 bukya balonda Ssabanyala.

Mmengo egenda mu kkooti okuyimiriza emikolo gino egamba nti lino jjoogo tebalina kumala gasaalimbira mu kifo kino.

Maj. (Rtd) Baker Kimeze ye Ssabanyala kyokka teyabaddewo naye ng’abantu abaawambye ekifo kino kwabaddeko abavubuka abaabadde babagalidde emiggo. Ekifo kyonna baakizingizizza nga tebakkiriza muntu kuyitawo.

Abalina amaka mu kitundu ekyo wadde abalimira mu bitundu ebyetooloddewo nga tebasala okuleka oyo gwe bakkirizza.

Embuga eriraanye olusozi Wabirumba mu kabuga k’e Bbaale Bugerere, eri ku ttaka lya Kabaka.

Abanyala bagamba nti eggombolola eyo yaabwe okuva lwe baakola endagaano wakati wa Buganda n’Abanyala.

Eggulo ku Ssande baakedde ku mbuga ne bagyefuga n’omwami wa Kabaka atwala ekifo ne bamufuumuula.

Ennyumba y'omumyuka baagyeddizza mwe basula, abamu bakira bakutte emiggo nga bakuuma, abalala baabadde balongoosa nga basaawa n’okuyonja ekifo nga bategeeza nti beetegekera mikolo ku Lwokutaano lwa wiiki eno September 30.

Baategeezezza nti okutandika n’olwaleero wagenda kubeerawo emikolo egy’enjawulo okuli okugema n’okujjanjaba abantu nga gikulirwa Kajwejweta (mukyala wa Ssabanyala).

Baataddewo ebivuga okuli ehhoma n’amadinda eggulo byasiibye bivuga.

Eria Paul Kiwanuka omumyuka wa Mugerere yategeezezza nti leero bakeera mu kkooti ewe ekiragiro bayimirize emikolo gino kubanga bw’obeera n’ennyumba yo omuntu tayingira nga bw’ayagala alina kusooka kusaba lukusa.

Fred Sekatwe akulira enteekateeka z’abagenyi ewa Ssabanyala yategeezezza nti tewali mbeera yonna ya bumenyi bw’amateeka kubanga gye bakoze.

Yaweze nti balina okugenda mu maaso n’enteekateeka yonna okulaba ng’emikolo bagimalirira ku Lwokutaano nga bwe baagitegese.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...