TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamukadde w'emyaka 100 yeewangulidde owa 30 n'akola ekyafaayo e Bukomansimbi

Nnamukadde w'emyaka 100 yeewangulidde owa 30 n'akola ekyafaayo e Bukomansimbi

Added 28th September 2016

ABATUUZE ku kyalo Kaliisizo mu ggombolola y’e Kibinge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bawuniikiridde Nnamukadde ow’emyaka 100 bw’ayanjuddwa ow’emyaka 30 ku mukolo gw'ebyafaayo.

 Katongole ne munne Nalubega nga bamema . EBIFAANANYI BYA PHIONA NANNYOMO

Katongole ne munne Nalubega nga bamema . EBIFAANANYI BYA PHIONA NANNYOMO

BYA PHIONA NANYOMO 

ABATUUZE  ku kyalo  Kaliisizo mu ggombolola  y’e Kibinge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bawuniikiridde Nnamukadde ow’emyaka 100 bw’ayanjuddwa ow’emyaka 30 ku mukolo gw'ebyafaayo.

Sabbuti Katongole y’awuniikirizza abatuuze bwe yalaze ssente  ng’ayanjulwa  eky’ebbeeyi kye Rehema Nalubega  mu maka ga bakadde be.

Nnamukadde  ono  mutuuze w’e Ttakajjunge-Kabonera e Masaka ku yawerekeddwaako abooluganda n’emikwano ne boolekera amaka ga Daudi Kiwanuka mu Kibinge  e Bukomansimbi okwefunira omufumbi w’ettooke amuwonye obuwuulu .

Bazadde ba Nalubega wamu n’abooluganda bakira balindiridde okulaba olulenzi olugenda okuwonya muwala waabwe okudibira ku lujja.

Olw’okuba nti Katongole yawerekeddwaako ne bazzukulu be, abantu baasoose kulowooza nti omu bavubuka bano mwe muli agenda okutwala Nalubega wabula kyababuuseeko nga Nnamukadde ye yeewangulidde Nalubega olwo enduulu n’evuga.

Ssenga w’omuwala yasituse okuleeta omuko mu kidaala bw’atyo n’asikayo Katongole mu bangi ng’eno bwe babiibya ku galiba enjole abantu ne bafa enseko.

Katongole ne munne Nalubega nga bamema

 

Oluvannyuma omugole Nalubega yafulumye mu nnyumba wakati mu nduulu, emizira n’okusaakaanya n’atuula okumpi n’omulenzi we ne batandika okweraga amapenzi ng’eno bwe balumya abateesi.

Kino kyalese abantu nga beewunaganya n’abandi okutegeeza nga bwe babadde batakirabangako okuva lwe baazaalibwa.

Nalubega awaanye ‘omulenzi’ we

Ye Nalubega yagambye nti kino abadde yakirindirira dda nga bulijjo asaba Katonda amuwe omusajja omutuufu ataamumenye mutima kubanga abadde yeekumidde ebbanga ddene.

Yagasseeko nti yeesunga okuzaalira omulenzi abaana n’okumulabirira awatali kukoowa kubanga ky'amukoledde kiragira ddala nti amwagala era musajja wa njawulo ku basajja abalala.

Bino byonna byabaddewo ku Ssande nga 25/09/2016.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza.

▶️ Fr. Musaala ng'akulembed...

▶️ Fr. Musaala ng'akulembeddemu okusinza mu Lutikko e Lubaga.

Abamu ku ba NUP e Jinja.

Aba NUP bamalirizza olusiri...

PULEZIDENTI wa NUP, Robert Kyagulanyi Sentamu asabye bannakibiina abalondebwa ku mitendera egy'enjwulo naddala...

Ennyanja ya Kabaka.

Abadde adduka ekikwekweto a...

ABADDE adduka ekikwekweto kya poliisi ne LDU mu Ndeeba agudde mu nnyanja ya Kabaka mu Ndeeba n'afiiramu. Brian...

Ggoolokipa wa KCCA Charles Lukwago ng’abuuse okulemesa aba Villa okumuteeba.

KCCA ne Villa zeenyooma

Egyazannyiddwa mu liigi URA 3-1 BUL Kitara 0-3 Vipers Leero (Ssande) KCCA - Villa, Lugogo 10:00 KCCA ne...