TOP

Omuwala abadde ategeka okwanjula abuze

Added 1st October 2016

OMUWALA, eyaakatwala omusajja mu bazadde be okukyala, abuziddwaawo. Shadia Nakalanzi Tushemerirwe, agambibwa okuba ow’emyaka 16, abadde abeera ne nnyina Lukiya Nandawula mu Kivvulu e Kawempe.

 Nakalanzi agambibwa okubuzibwawo.

Nakalanzi agambibwa okubuzibwawo.

Bya REGINAH NALUNGA NE MOSES LEMISA

OMUWALA, eyaakatwala omusajja mu bazadde be okukyala, abuziddwaawo. Shadia Nakalanzi Tushemerirwe, agambibwa okuba ow’emyaka 16, abadde abeera ne nnyina Lukiya Nandawula mu Kivvulu e Kawempe.

Abadde akola gwa kutambuza ddagala lya ssennyiga n’ekifuba. Yabulawo nga September 7, 2016.

Nga Nakalanzi tannabuzibwawo oba okwebuzaawo, yasooka kukola mukolo gwa kukyaza musajja eyategeerekeseeko erya Ssenyenje mu bazadde be mu disitulikiti y’e Sheema nga August 20 omwaka guno.

Abazadde baasalira Ssenyenje ebintu okuli n’ente era abadde mu nteekateeka za kukola mukolo gwa Kwanjula (Kuhingira).

Poliisi y’e Kawempe yakutte Joan Nabaggala, 24, mukwano gwa Nakalanzi, nga yandibaako ky’amanyi ku mayitire ga munne.

Nabaggala yategeezezza nti baali ku Mini Price nga ye alina kasitoma gw’aguza eddagala nga Nakalanzi bw’amulindako wabula agenda okutunula emabega nga takyamulabawo.

Yakuba ne ku ssimu ye nga teriiko era aba bodaboda kwe kumugamba nti kirabika KCCA emukutte, kyokka era ne ku City Hall teyaliiyo.

Yakubira Maama Angel (mukama wa Nakalanzi) n’oluvannyuma Nandawula (maama wa Nakalanzi).

Akawungeezi, Nandawula yamukubira essimu n’amugamba nti waliwo abasajja abamuwambidde mu mmotoka, olwo essimu n’evumbeera era okuddamu okugikubako nga teriiko.

Okuva nga September 7, Nandawula abadde tagendanga ku poliisi era Ssenyenje ye yaloopye ng’agamba nti kyandiba nga Nandawula ne muwala we bamubuzaabuza.

Ye Faizal Ssuuna (bba wa Nabaggala) yagambye nti byandibaamu eyaliko muganzi w’omuwala.

“Omuzigo gwaffe guliraanye ewa Nandawula era namuwulira agamba Alex (eyaliko muganzi wa Nakalanzi) ku ssimu yeesonyiwe omwana we. Mukyala wange bamukwatidde bwereere,” bwe yagambye.

Nandawula yagambye nti okuva omwana we lwe yabula, Nabaggala abadde amwewala, ekimulowoozesezza nti yandibaako ky’amanyi.

Conrad Muzoora, akwanaganya poliisi n’omuntu waabulijjo e Kawempe, yategeezezza nti Nabaggala abayambako mu kunoonyereza era omusango guli ku fayiro SD:20/09/09/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...