
Serwanja ne mukyala we Namugabi abakwatiddwa mu mmotoka yaabwe nga basinda omukwano
POLIISI y’e Nansana ekutte lubona abafumbo nga basindira omukwano mu mmotoka gye babadde basimbye ku kkubo, omusajja ne yeekangabiriza nga bwe yalwala edda ssukaali nga takyasobola nsonga za mukwano.
Faizal Serwanja, 30, ne Jesca Namugabi, 23, abafumbo nga batuuze b’e Nansana East, Zooni 2 be baakwatiddwa nga basinda omukwano.
Abafumbo bano balina omwana omu ow’emyaka ebiri. Thomas Angulo, akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Nansana ye yabakutte ng’akulembeddemu banne bwe baabadde balawuna ekitundu mu kiro ekyakeesezza Olwomukaaga.
Ku ssaawa musanvu ekiro, beekengedde emmotoka ekika kya Toyota Caribu, nnamba UAH 281P eyabadde esimbye ku mabbali g’oluguudo oluva e Nansana okukkirira e Nabweru.
Bwe baagisemberedde baagenze okulaba nga yeenyeenya ng’awulira n’amaloboozi agasiiyiriza. Yalagidde abaabadde munda baggulewo kyokka ne beesisiggiriza.
Omusajja oluvannyuma yagguddewo mu busungu n’ayambalira Angulo n’amukuba ekigwo nga bw’amubuuza ky’amunoonyaako.
Mu kiseera ekyo omusajja yabadde yeeyambudde ng’ali mu kawale ka munda, nga mu mmotoka musigaddemu omukyala eyabadde yeesuliddeko engoye ng’alaajana babasonyiwe.
Abaserikale baayanguye okutaasa mukama waabwe ku musajja n’atwalibwa ku poliisi y’e Nansana n’emmotoka yaabwe gye baabaddemu.
Serwanja yategeezezza nti yabadde tali mu kusinda mukwano, kuba yalwala ssukaali nga takyasobola nsonga za mukwano. Kyokka Namugabi yeetonze n’asaba ekisonyiwo n’ategeeza nti kituufu baabakutte nga basinda omukwano.
Namugabi yagambye nti baabadde bali mu mmotoka yaabwe nga badda awaka, bba kwe kumugamba basooke beesanyusizeemu mu mmotoka nga tebannaba kutuuka waka. Yagambye nti yabadde tayinza kugaana kuba yabadde ne bba.
Abafumbo bano bagguddwako omusango gw’okusasamaza abantu nga guli ku fayiro namba REF; 07/01/10/2016.
Angulo yasabye abafumbo okubeera abagumiikiriza batuuke awaka beesanyuse oba okugenda mu loogi okusinga okubeera mu bifo eby’olukale.