TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basiimiddwa okumanya enkozesa y'obubonero bw'okunguudo

Basiimiddwa okumanya enkozesa y'obubonero bw'okunguudo

Added 5th October 2016

Basiimiddwa okumanya enkozesa y'obubonero bw'okunguudo

 Abamu ku baasiimiddwa nga baweereddwa ebirabo

Abamu ku baasiimiddwa nga baweereddwa ebirabo

BA DEREEVA ba takisi mu ppaaka ya Mambule basabye poliisi y’ebidduka  okusawo emisomo egyenjawulo egikwatagana n’obubonero bw’oku nguudo okwongera okubangula ba dereeva .

Bino byayogeddwa Sulaiman Wasanyi  ssentebe waba Dereeva ku  steegi ya Kaleerwe  Out Stand Stages ng’era ye Ssentebe waba Dereeva mu Kawempe abagettira mu kibiina kya KOTSA  ekitwala siteegi eziri mu Kampala ku mukolo gw’okugabira ba dereeva abasinga bannaabwe empisa mu ppaaka ya Mambule.

Wasanyi yategeezezza nti  singa poliisi essaawo emisomo egyenjawulo ku siteegi ezenjawulo mu Kampala egikwatagana n’obubonero bw’oku nguudo kijja kuyambako ba dereeva okweyongera okumanya amateeka g’oku nguudo.

Yagasseeko nti ba dereeva bangi mu Kawempe ababadde tebamanyi bubonero bwa ku nguudo nga kati batandise kaweefube w’okubasomesa n’ekigendererwa ky’okumalawo obubenje ssaako n’okutumbula omulimu gwa takisi ,Paaka y’oku Kaleerwe erimu mmotoka ezigenda mu bitundu eby'enjawulo okuli Bugerere,  Mukono , Ziroobwe n’ebitundu ebirala  .

Yayongeddeko nti abaawereddwa ebirabo beebaasinga bannaabwe mu mwaka 2015 okukola obulungi  nga kino bakikola okusobola okulaga ba dereeva nti omulimu gwa takisi si gwa bayaaye nga bwe kyogerwa.

Abamu ku baawereddwa ebirabo kuliko  Bonny Ssekandi yaweereddwa essaawa y'oku kisenge lwa Mpisa , Tonny Mubiri yasinze banne okwewa ekitiibwa , Muhamad Mubiru yasinze mu Buyonjo ono ayambala  kkooti ne mmotoka ye tagikirizza kuddugala , Diriisa Kikomeko ono ye yasinze okumanya obubonero bw’oku Nguudo .

Ephraim Tebandeke asomesa ba dereeva obubonero yategeezezza nti  omulimu guno gukolebwa bakulembeze ba siteegi okusobola okulaba nga ba dereeva baabwe tebafiira mu bubenje ssaako n'okukwatibwa poliisi y'ebidduka lwa butamanya bubonero n'amateeka ga ku nguudo.

Yagasseeko nti buli lwakuna ba dereeva ba takisa , aba loole ssaako n'aba Boda Boda okuva mu bitundu ebyenjawulo babasomesa obubonero bw'oku nguudo ku bwerere mu kaweefube w'okulwanyisa obubenje ku nguudo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...