TOP

Janet Museveni asiimye abasomesa

Added 7th October 2016

MINISITA w’Ebyenjigiriza, Janet Museveni yeebazizza kkampuni ya Vision Group olw’okusiima abasomesa n’asaba abasomesa abalala okuyigira ku bannaabwe abawanguzi.

MINISITA w’Ebyenjigiriza, Janet Museveni yeebazizza kkampuni ya Vision Group olw’okusiima abasomesa n’asaba abasomesa abalala okuyigira ku bannaabwe abawanguzi.

Yabadde ku kitebe kya Vision Group ku mukolo abasomesa ba pulayimale munaana kwe baaweereddwa ebirabo ebibasiima olw’okusukkuluma ku bannaabwe mu buweereza.

Yategeezezza nti abawanguzi balaze ekyokulabirako olw’engeri gye bayambye abayizi okufuna ebyokulya, okutumbula ebitone byabwe, n’okubaagazisa okuba mu masomero. Yagambye nti ssinga buli musomesa yeeyisa nga bano eggwanga lya kweyagaza nnyo.

“Bw’osoma amawulire olaba abantu nga boogera ku kusoomoozebwa okuli mu masomero ga Bonnabasome. Kinsanyusizza okulaba nga basiimye abasomesa baffe abakolera mu kusoomooza,” Janet Museveni bwe yagambye.

Wakati mu kusoomoozebwa, Janet Museveni yasabye abantu okusiima ebirungi enkola ya, Bonnabasome wa pulayimale byereese naddala omuwendo gw’abayizi okweyongera.

Enkola eno we yajjira mu 1996 abaana obukadde busatu n’emitwalo 10 be baali mu pulayimale, oluvannyuma lw’omwaka gumu gwokka abayizi obukadde butaano n’emitwalo 30 be beewandiisa.

Mu kiseera kino abaana abawera obukadde munaana n’emitwalo 20 be bali mu masomero gano.

Kkampuni ya New Vision ng’eyita mu mpaka ze yatuuma “Teachers Make a Difference”, yasiima abasomesa ba Pulayimale abali mu masomero ga Bonnabasome munaana. Baaweereddwa ebirabo omwabadde satifikeeti ne kkavvu.

Abawanguzi kuliko, Daniel Waninsa omusomesa mu Nagongera Girls Primary School e Tororo, Basan Mohamed Khan, omusomesa mu Butumba Muslim Primary School e Bugiri, Wilson Bukaayi omukulu w’essomero lya Kamuli Girls Primary School, Deborah Alibu, omukulu w’essomero lya Namalu Mixed Primary School e Nakapiripiriti, Anna Twongeirwe, musomesa mu Nyakibale Lower Primary School, Eric Masereka omukulu w’essomero lya Railway Primaey School e Kasese, Musa Kisibo musomesa mu Morukatipe Primary School mu disitulikiti y’e Tororo ne Sarah Susan Wamala Serunkuuma omukulu w’essomero lya Mukono Boarding Primary School.

Robert Kabushenga, akulira Vision Group yagambye nti kkampuni yasalawo okusiima abasomesa kuba yakizuula nga ly’ekkubo eryangu ery’okukyusa obulamu bw’abantu. Yasuubizza okwongera okuwagira enkola eno.

Nga kkampuni ya Bannayuganda yagambye nti kibakakatako okuyamba awaba obwetaavu.

Abasomesa abaawangudde abaakiikiriddwa Susan Wamala Serunkuuma, baasiimye Vision Group ne bategeeza nti kino babadde tebakisuubira mu bulamu bwabwe.

Omubaka wa Ireland mu Uganda, Donal Cronin yeetabye ku mukolo gw’okusiima abasomesa era n’asuubiza okukwatiza awamu ne kkampuni ya Vision Group nga basiima abakozi.

Yalaze obwesige mu Janet Museveni n’ategeeza nti ku kye yalabako e Karamoja amanyi ajja kukyusa ebyenjigiriza.

Omukuhhaanya ow’okuntikko owa Vision Group, Barbra Kaija yategeezezza nti kkampuni ezze eteekawo enkola mwesiimira abantu abasukkulumye ku balala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...