TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa Bulamba Stores yagaana omulambo gwe okuguyingiza mu nnyumba

Owa Bulamba Stores yagaana omulambo gwe okuguyingiza mu nnyumba

Added 8th October 2016

Owa Bulamba Stores yagaana omulambo gwe okuguyingiza mu nnyumba

OMUGAGGA wa Bulamba Stores and Welding e Katwe, Philemon Lubwama aziikiddwa, abooluganda ne bagoberera ekiraamo kye. Lubwama yafiira mu buliri ku Ssande mu maka ge e Salaama, omulambo gwe ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mengo gye gwaggyiddwa okuziikibwa e Bukatira mu ggombolola y’e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke mu maka ga abadde yaakazimba.

Baasoose kusaba e Lukumbi mu Nakaseke ng’eno Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gye yasabidde abazadde okukuza abaana baabwe nga batya Katonda n’okubayigiriza okukola kubayambe okukula n’obuvunaanyizibwa. Okusaba kwakulembeddwaamu Omulabirizi w’e Luweero eyawummula, Evans Mukasa Kisekka eyakuutidde abantu okuba n’amazima mu buli kye bakola kibayambe okujjukirwanga ne bwe baba nga bavuddewo.

Oluvannyuma lw’okusaba baasomye ekiraamo ky’omugenzi nga kiraga nti omulambo gwe tebagusuzanga mu nnyumba gy’abadde asulamu wabula bagutwale gye gulina okuziikibwa era kye baakoze. Yabalagira obutamuziika kumpi ne we baaziika kitaawe Festo Kaweesa mu Lukumbi abooluganda kye baagoberedde ne bamuziika mu maka ge amalala e Bukatira.

Omu ku batabani b’omugenzi era nga y’akulira HL Construction, Henry Lubwama yayogedde ku kitaawe ng’omuntu abadde omukozi. Okuziika kwetabiddwaako n’omuduumizi w’amagye ga UPDF Gen Katumba Wamala, Ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga, amyuka akulira yunivasite ya Makerere University Polof. Ddumba Ssentamu n’abalala.

LUBWAMA Y’ANI?

Lubwama yazaalibwa omwami Festo Kaweesa nga November 4, 1927, mu disitulikiti y’e Nakaseke. Mu 1995, yatandika Richards Construction ate mu 1960 n’atandika kkampuni ya Central Workshop. Mu 2005, yaweebwa ekirabo okuva mu kitongole ekisolooza omusolo URA olw’okuba omusasuzi w’omusolo omukuukuutivu omwaka ogwo.s

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...