TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etongozza okussa emisanvu ku nguudo zonna

Poliisi etongozza okussa emisanvu ku nguudo zonna

Added 9th October 2016

Poliisi etongozza okussa emisanvu ku nguudo zonna

 Emisanvu egiri ku luguudo lw'e Masaka ate mu katono ye John Bosco Ssejjemba.

Emisanvu egiri ku luguudo lw'e Masaka ate mu katono ye John Bosco Ssejjemba.

Ekikwekweto kya 'Fika Salama' nga kikolebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya UNRA ne poliisi y'ebidduka ku luguudo lw'e Masaka kitongozeddwa ku nguudo endala. Kino kiddiridde ekikwekweto kino ekyatandika nga August 11, 2016 nga baddereeva 2,412 n'emmotoka be bakwatiddwa mu kikwekweto kino.

Bano era bavuddemu ssente z'engassi obukade 400. Mu kikwekweto kino pamiti ez'ebicupuli, ezaggwaako n'abo abavuga kiraasi ezitabakkirizibwa be basinze okukwatibwa.

Mu balala kubaddeko abavuga mmotoka ganyegenya, endiima n'okuyisiza mu makoona. John Bosco Sejjemba akulira ebikwelweto mu UNRA yagambye nti, enguudo okuli; Kampla - Mityana, Kampala - Jinja, Kampala - Hoima ne Bombo ekikwekweto kyatongozeddwaayo.

"Twagala kuggyawo endowooza mu bantu ababadde bagamba nti obubenje ku nguudo naddala ku Masaka buva ku kkolaasi aseerera n'engeri embi gye lwakolebwamu wabula ng'obuzibu buva ku baddereeva abavuga obubi n'emmotoka ganyegenya, " Sejjemba bwe yagambye.

Dr. Stephen Kasiima akulira poliisi y'ebidduka n'okulwanyisa obubenje mu ggwanga yagambye nti buli kakodyo baddereeva ke bakozesa bakasalidde amagezi.

Yagambye nti kati bakozesa essimu okuweereza obubaka eri bannaabwe ku 'whatsapp' okunyweza abamenye amateeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....