TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadiventi basabye gavumenti okukola ku biremesa abayizi okukola obulungi ebigezo

Abadiventi basabye gavumenti okukola ku biremesa abayizi okukola obulungi ebigezo

Added 10th October 2016

Abadiventi basabye gavumenti okukola ku biremesa abayizi okukola obulungi ebigezo

Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo okuli P.7, S.4 ne S.6 mu masomero agali wansi w'eddiini y'Abadiventi mu disitulikiti y'e Mukono bakungaanye mu kusaba okw'awamu okwetabiddwamu abakulira amakanisa g'aba Advent mu Mukono ag'enjawulo, abazadde n'abasomesa.

Okusaba kuno okubadde ku ssomero lya Hiltona High School e Mukono ku Ssabbiiti kwakulembeddwa omusumba akulira eby'enjigiriza mu masekkati ga Uganda mu kkanisa y'aba Advent, Pr. Rogers Kaggwa.

Amasomero agaakwetabyemu kuliko, Global Junior School, Hilton High School, Elasto and Dorah P/S, Kyetume SDA, Seeta SDA, Happy Hours P/S, Jessjonny P/S, University Hills, Kirinnya Central n'amalala mangi. Abasomesa, abazadde ne Pr. Kaggwa baasabidde abayizi okulaba nga bayita bulungi mu nnaku ze bagenda okukoleramu ebigezo nga tebalina bizibu bibatataaganyizza.

Pr. Kaggwa yalaze okunyolwa okulaba nga mu kiseera kino ng'eggwanga mu bitundu eby'enjawulo abayizi beteekerateekera okukola ebigezo, ate eriyo abayizi abasomera mu bitundu ebizibu naddala mu byalo ewali n'abasomera mu bisiikirize by'emiti.

Kaggwa yasinzidde wano n'asaba gavumenti eteekewo enteekateeka abayizi ab'ekika kino babapangisize teweema bakolemu ebigezo kibawonye ku buzibu bwe bayinza okusanga ng'omusana n'enkuba okubalemesa okukola obulungi ebigezo.

Pr. Kaggwa yasabye abakulira poliisi mu ggwanga okutangira bannabyabufuzi okwekalakaasiza okumpi n'amasomero abayizi mwe bakolera ebigezo mu nnaku z'ebigezo kye yagambye nti kijja kutataaganya abayizi n'oluusi kibaviireko okugwa ebigezo ekitajja kubeera kirungi. Ate abamu ku bazadde baasabye abakulira amasomero okuyamba abazadde bakkirize abayizi abatannamalayo bisale bakole ebigezo olwo basasule mpola ensimbi ziggweyo.

Ate ku lw'abakulu b'amasomero, Gordon Katimbo akulira essomero lya Hilton High e Mukono yasabye abazadde nti ng'abayizi beteekateeka okukola ebigezo, nabo basaanye okubakwatizaako mu ngeri ez'enjawulo.

Katimbo yanokoddeyo okulaba ng'abazadde bamalayo ebisale by'amasomero bawonye abayizi okutataaganyizibwa nga bagoba okudda ewaka okunona ensimbi n'okugenda ku masomero gaabwe boogereko nabo baddemu amaanyi. Abayizi ba S.4 baakutandika ebigezo ku Mmande ya wiiki ejja nga 17 sso nga bbo aba P.7 baakukola ebigezo byabwe mu November nga 2 ne 3.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...

Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng’alonda ku muzikiti e Namwezi.

Okulonda bwe kwabadde e Lug...

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi...