TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Babbye omwana ne bamusibira mu bookisi y'ennyaanya

Babbye omwana ne bamusibira mu bookisi y'ennyaanya

Added 10th October 2016

E BWEYOGERERE – Kirinnya, abasajja babiri bakutte n’omwana omubbe.

Bya MADINAH NALWANGA

E BWEYOGERERE – Kirinnya, abasajja babiri bakutte n’omwana omubbe.

Musa Tibiita (35) ne Tom Egesa (18), abatuuze b’e Kirinnya Namataba be bakwatiddwa nga bamukukumye omwana , Betty Nnabirye (4 ) mu bookisi y’ennyaanya nga bagibisseeko ebipapula mu nnyumba.

Omu mu bato banne bwe babadde bazannya y’alabudde nnyina, Deziranta Nalwadde, abadde anoonya Nnabirye n’amugamba nti waliyo omusajja amusise ku mukono n’amuyingiza mu nnyumba.

Nalwadda ng’ali n’abatuuze bakonkonye ku nnyumba ya Tibiita kyokka n’agaana okuggulawo, ekibawalirizza okukuba enduulu abantu ne bongera okukung’aana ne basamba oluggi ne bayingira munda ne bagwa ku mwana ng’apakiddwa mu kibookisi okukira ennyaanya!.

Amangu ddala, Poliisi y’e Kirinnya eyingiddewo ne bataasa Tibiita ne Egesa ku batuuze ababadde bataamye obugo nga baagala kubamiza musu.

Bombi batwaliddwa ku Poliisi y’e Kirinnya ne baggulibwako omusango gw’okubba omwana ku fayiro nnamba SD REF; 25/09/10/2016.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...