TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balonze olukiiko lw'ebyentambula oluggya ku Kaleerwe Poliisi n'ebalabula

Balonze olukiiko lw'ebyentambula oluggya ku Kaleerwe Poliisi n'ebalabula

Added 11th October 2016

Balonze olukiiko lw'ebyentambula oluggya ku Kaleerwe Poliisi n'ebalabula

POLIISI erabudde olukiiko olupya olwa londeddwa ba badreeva oluvannyuma lw'okuyiiwa olukadde lwe balumirizza okubulankanya obukadde 49 .

Ku Mmande ba dereeva  abakolera mu paaka ya Kaleerwe Out Stand Stages abali mu kibiika kya Kaleerwe Bugerere  bazinzeeko ofiisi z'ekibiina n'ebaggyamu ebintu byonna ne bakwata ne Emmanuel Kyazze omuwandiisi  ne Swaib Kibuuka owa Well Fare  oluvannyuma lw'okukizuula nti kirabika beekobaana ne Isma Mpoza ssentebe w'ekibiina atannakwatibwa  ne baggya ssente obukadde 49 ku akawunti y'ekibiina mu bbanka ya DFCU gye baasanze nga tekuli yadde enusu .

Kino ky'abaawalirizza ku Lwokubiri okukuba olukiiko ku bbaala ya Game City ku Kaleerwe  ne bayiiwa akakiiko akakadden ne balonda akapya ke baataddeko amateeka amakakali ng'abalondeddwa kuliko  Muhamad Kintu ssentebe.

Eria Mpagi mu myuka we  , Rogers  Mpagi muwandiisi  ,  Muhammad Mayanja muwanika , Fred Kagimu Guide  , Swaib Kibuuka ku kya Well Fare ng'ono abadde ku kakiiko akakadde ne bamukomyawo oluvannyuma lw'okukizuula nti  baamukozesa nsobi ye tamanyi mayitire ga ssente  nga ne akawunti y'ekibiina enkadde baagigaddewo nga bagenda kuggulawo ndala.

Badereeva baakutte n'emmotoka ya Emmanuel Kyazze ey'ekika kya  Premio  nnamba  UAY 105X 325470 ne bagikwasa poliisi nga  bagamba gye balina okutandikirako okukomyawo ssente zaabwe kyokka Kyazze  yategeezezza nti mmotoka alina eyagimusingira ng'asala magezi malala okulaba ng'awa badereeva ssente zaabwe z'amanyi ze yakozesa mu bukyamu

ISAAC Ongom atwala poliisi y'oku Kaleerwe ne John Nabongho akulira ebikwekweto  balabudde akakiiko akapya  obutakola  emivuyo kuba bonna bajja kukwatibwa  ng'erimu balina  kugikola mu bulambulukufu.

Emmanuel Kyazze eyakwatiddwa  ekirungi  mu sitatimenti ye alaga nti alina ssente z'amanyi ze yakozesa mu bukyamu nga kati balinda balabe oba anteseganya n'abamuwawaabira okubasasula oba sikyo fayiro etwalibwe mu kkooti .omusango guli ku Fayiro nnamba Omusango guli ku Fayiro nnamba SD REF: 08/08/10/2016  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...