
His Grace Stanly Ntagali ng'ayogera ne bannamawulire
SSABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali akkirizza okugenda mu kkooti okwewozaako ku musango ogwaamuwabibwa abasumba b’omubulabirizi bwa Ankole mwe baawakanyiza emitendera gye yayitamu okweddiza obulabirizi bwe Ankole.
Kigambibwa nti omwezi oguwedde,omulabirizi wa Ankole yona Katoneene yawummula emirimu gy’obulabirizi wabula bwe yawummuzibwa ssabalabirizi Ntagali neyeddiza okukulembera obulabirizi buno ekintu abasumba kye baawaknaya nga bagamba nti tekiri mu mateeka.
Ssabalabirizi era asinzidde mu lukungaana lw’abamawulire olutudde ku kkanisa All Saints e Nakasero nategeeza nti ye yalina obuyinza obwenkomeredde okulabirira ekitundu kyonna eky’ekkanisa n’okulonderamu omulabirizi.
Mu lukungaana luno ssabalabirizi ng’ali wamu ne MTN,batongozza enkola empya egunjuddwawo okusobola okusonda ssente z’okutandikawo bbanka y’ekkanisa ya Uganda okusobola okuddukirira n’okuyamba abantu mu byenjigiriza,amalwaliro wamu n’abantu abali mu bwetaavu.