TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebisago 4 Kiggundu by'afunidde mu kakiiko k'ebyokulonda

Ebisago 4 Kiggundu by'afunidde mu kakiiko k'ebyokulonda

Added 12th October 2016

Ebisago 4 Kiggundu by’afunidde mu kakiiko k’ebyokulonda

 Eng. Kiggundu

Eng. Kiggundu

DR. Badru Kiggundu atandise okumyumyula engugu okunnyuka emirimu gy'akakiiko k'Ebyokulonda k’akulidde okumala emyaka 14. Emyaka 14 giggwaako November 18 kuba yalondebwa Pulezidenti Museveni mu 2002, okudda mu bigere bya Alhaj Aziz Kalungi Kasujja.

Kiggundu ataddewo likoda mu by'okulonda mu Uganda kubanga okuva mu 1962, Uganda lwe yafuna obwetwaze, tewali muntu akulidde kakiiko ka byakulonda kumala myaka mingi gityo . Bonna abakulidde akakiiko kano okuli; Kosiya Seneca Kikira eyakulira okulonda kwa 1980, Steven Besweri Akabway eyategeka okulonda kwa CA n'okwa 1996, gattako ne Aziz Kasujja eyategeka okwa 2001, bonna baakola emyaka egitasukka ettaano.

Mu myaka 14, Dr. Kiggundu ategekeddemu okulonda kwa Pulezidenti kwa mirundi esatu, mu 2006, 2011 ne 2016 era ye muntu y’omu eyategeka akululu ak'ekikungo nga July 28, 2005, Bannayuganda 92 ku buli 100 mwe baasalirawo okudibya enfuga ey'omugendo, ne tuddayo ku nfuga y'ebibiina ebingi, eyali yawerebwa mu 1986 nga NRA yaakawamba obuyinza.

Dr. Kiggundu w'amaliddeko ekisanja kye, nga Bannayuganda abamu bamutenda buvumu, omukkakkamu so ng'omulimu gw'abadde akola gwe gumu ku mirimu gya Gavumenti egisinga okusoomooza. Okumanya Kiggundu akoledde ku bugubi, waliwo ne bwe yeekubira enduulu ku b'ebyokwerinda olw'abantu abatamanyiddwa abaali bamutiisatiisa okumutta.

BESIGYE AFUNAMU? 1. Wabula abamu ku Bannayuganda, Dr. Kiggundu bamuwanda lulusu, bamutenda ettima eri ab'oludda oluvuganya Gavumenti, okugwa olubege eri Pulezidenti Museveni n'aba NRM, okwekkiriranya ku nsonga ez’okukwasisa amateeka g'ebyokulonda mu bwenkanya era bamulumiriza okutegeka okulonda okutaliimu mazima na bwenkanya.

Mu bantu abasinga okwevuma Kiggundu mulimu D. Kizza Besigye, eyaakeesimbawo emirundi ena kyokka ng'awangulwa Museveni. Kyokka Besigye alumiriza nti Kiggundu nti akolera Pulezidenti n'ekibiina kya NRM era okulonda kwonna Kiggundu kw'azze ategeka tekutuuka ku mutindo ogukkiriza mu mateeka g'ensi yonna.

Ku ntikko y'akalulu akaakaggwa aka 2016, Dr. Kiggundu yategeeza nti ssinga si ki, yandibadde awandula Besigye mu Lwokaano olwa kampeyini ye ey’okujeema (Defi ance), kubanga etaataaganyizza emirimu gy'okulonda Kino abawagizi ba Besigye n'okutuusa kati bakyakyesibako nti kabonero ak’enkukunala akalaga obukyayi bwa Dr. Kiggundu eri Dr. Besigye era bagamba nti tebeewuunya nti obululu bwa Besigye obumu bweveera, n'ebikozesebwa mu kulonda mu Kampala ne Wakiso, Besigye gy'alina obuwagizi obungi, Kiggundu yabikeereyesa.

Mu kulonda kwa 2001 ne 2006, Besigye yeekubira enduulu mu kkooti ey'oku ntikko ng'awakanya ebivudde mu kulonda kyokka kkooti ku nfunda zombi, yagaana okusazaamu obuwanguzi bwa Museveni wadde ng'abalamuzi bakkiriziganya ne Besigye nti okulonda kwalimu ebirumira.

Okulonda kwa 2001, Besigye kwe yasooka okuwangulwa, kwategekebwa Aziz Kasujja, naye Besigye gwe yakukkulumira okupangira Museveni obuwanguzi, ekitegeeza nti n'omuntu agenda okuddira Kiggundu mu bigere, naye ab’oludda oluvuganya bayinza okumwesonsaako.

Okuggyako nga waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu nnonda y'akakiiko k'Ebyokulonda, buli anaalondebwa mu kakiiko kano, kyangu okutunuulirwa ng'omuntu agenda okukola ebiyamba Pulezidenti Museveni.

Ezimu ku nkyukyuka ab'oludda oluvuganya ze baagala, ye muntu alondeddwa nga ssentebe w'akakiiko okubeera ku ddaala ery'omuntu asobola okulondebwa ng'omulamuzi. Baagala n'ebibiina by'obufuzi eby’amaanyi okulonda waakiri omuntu omu okubeera Kaminsona ku kakiiko k'ebyokulonda.

LWAKI BANVUMA? - KIGGUNDU Dr. Kiggundu agamba nti yeenyumiriza mu buweereza bwe nga ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda kubanga omulimu agukoze n'amaanyi ge gonna wakati mu kusomoozebwa okuva mu bannabyabufuzi.

“Njagala okujjukirwanga ng'omusajja abadde omukozi, eyeerekereza byonna okuweereza eggwanga n'okuba nti mbadde nkuuma obukkakkamu wadde babadde banjogerera amafuukuule n'okunvuma,” bwe yagambye.

Emyaka 14 gy'abadde mu kakiiko, Kiggundu agamba nti aleese enkyukakyuka ennungi mu byokulonda kubanga we baamulondera mu 2002, yasanga lijesita y'abalonzi eri matankane, wabula agirongoosezza, abalonzi ne babakuba ebifaananyi, era w’aviiriddewo nga lijesita erina n'ebinkumu, nga kati tekisoboka omulonzi ow'empewo okukuba akalulu.

Kiggundu era yeenyumiriza mu nkyukakyuka n'ennongoosereza ezikoleddwa mu mateeka g'ebyokulonda, by'agamba nti biyambye okulinnyisa omutindo gw'ebyokulonda mu ggwanga.

2. Embeera ey'okuvuma, obutasiimibwa n'erinnya lye okukubwa mu bitaba, Kiggundu agamba yabimanyiira kubanga eby'okulonda okufaananako ebyobufuzi, tebiriimu mukwano gwa nkalakkalira.

" Kyangu oli okukusiima ng'awangudde akalulu, kyokka enkya omuntu y'omu asobola okukwogerera ebikankana ng'awanguddwa", Kiggundu bwe yategeeza gye buvuddeko.

3. Ng'ava mu kakiiko k'ebyokulonda, Kiggundu agamba nti ebimu ku bintu yejjusa, gwe muze gwa Gavumenti ne Palamenti okuyisa ennongoosereza mu mateeka ng'obudde buweddeyo ne gakosa enteekateeka z'akakiiko.

Mu musango Amama Mbabazi gwe yawawaabidde Pulezidenti Museveni n'akakiiko k'Ebyokulonda ng'awakanyaebyavudde mu kalulu ka 2016, abalamuzi ba kkooti ey'omu ntikko wadde baakakasizza obuwanguzi bwa Museveni, baliko ensobi ze baakutte Kiggundu n'akakiiko ke naddala ku kukeereyesa ebikozesebwa mu bitundu ebimu, n’engeri ebyava mu kulonda bwe byakuηηaanyizibwa n'okulangirirwa n'ebirala.

KIGGUNDU AGUDDE MU BINTU 4. Nga Kiggundu bwe yeetegekera okuwummula egy'akakiiko k'ebyokulonda, Pulezidenti yamugonnomoddeko ogufo nga ssentebe w'akakiiko k'abakugu akagenda okulondoola okuzimbibwa kw'ebbibiro ly'e Karuma ne Isimba.

Omulimu omupya, Pulezidenti yaguwadde Kiggundu mu July w’omwaka guno. Amabibiro gombi, (Karuma ne Isimba) gazimbibwa kyokka gatambulira ku sipiidi ya kasoobo ate nga waliwo n'ebigambibwa nti kkampuni z'Abachina ezaaweebwa kontulakita, omulimu zigukola mu ngeri ya gadibengalye.

Kiggundu yawakanyizza ebigambibwa nti omulimu guno gwamuweereddwa ng'akasiimo olw'okutegeka okulonda okuyambye Pulezidenti Museveni okwenywereza mu buyinza.

ANAASIKIRA KIGUNDU

Konsitityusoni mu katundu 60 , ewa Pulezidenti obuyinza okulonda abaakakiiko k'Ebyokulonda okuli ssentebe, omumyuka wa ssentebe ne bakaminsona bataano, oluvannyuma ne bakakasibwa Palamenti. Kino kyennyini, Pulezidenti Museveni ky'ateekateeka okukola kubanga olunaku olwa November 18, 2016 luteekwa okutuuka nga ssentebe w'akakiiko omumyuka, omumyuka we ne bakaminsona balondeddwa.

Ng'oggyeeko Dr. Kiggundu, n'omumyuka wa ssentebe w'akakiiko k'Ebyokulonda Joseph Biribonwa wamu ne bakaminsona amalala basatu; Dr Jenny Okello, Steven Ongaria ne Tom Buruku nabo ekisanja kyabwe kigenda kuggwaako mu November ate kaminsona Tomasi Sisye Kiryapawo yawummula emyaka ena egiyise, ekifo kye Pulezidenti Museveni teyakijjuza. KamiNsona omu yekka, Christine Ahabwe Mugabe y'agenda okusigala mu kakiiko k'ebyokulonda ku ttiimu yonna eriyo kati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...