TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ziizino ensonga kkooti kwe yasinzidde okwejjeereza muka Kasikuwira

Ziizino ensonga kkooti kwe yasinzidde okwejjeereza muka Kasikuwira

Added 14th October 2016

OWA poliisi Jaden Ashiraf olwamugambye nti asibiddwa emyaka 20 ku musango gw’okutta Kasiwukira, yakubye mu ngalo n’alaga essanyu kubanga yabadde asuubira ekibonerezo ekinene ennyo!

 Kasiwukira ne Nabikolo ku mbaga yaabwe.

Kasiwukira ne Nabikolo ku mbaga yaabwe.

OWA poliisi Jaden Ashiraf olwamugambye nti asibiddwa emyaka 20 ku musango gw’okutta Kasiwukira, yakubye mu ngalo n’alaga essanyu kubanga yabadde asuubira ekibonerezo ekinene ennyo!

Muganzi we Sandra Nakkungu ate ye bwe baamusalidde ekibonerezo kye kimu, yazimbye mu busungu obw’ekitalo era yayongedde okussaako ‘ffeesi ebanja” ng’omulamuzi atuuse ku Nnamwandu Sarah Nabikolo bwe yamwejjeerezza omusango gw'okutemula bba Eria Ssebunya Bugembe Kasiwukira ku makya ga October 17, 2014.

Omulamuzi Masalu Musene yamaze essaawa ssatu nnamba ng’asoma ensala ye era ekiseera ekyo kyonna kyabadde kya kasiriikiriro na bunkenke mu kkooti enkulu mu Kampala.

Abaana ba Nabikolo n'abooluganda lwe baakubye obuluulu ng’omulamuzi yejjeerezza omuntu waabwe, era oluvannyuma baamugudde mu kifuba okumukulisa ekkomera ly’amazeemu omwaka gumu n’emyezi 10 ng’ali ku limanda e Luzira. Nabikolo yabadde awolerezebwa looya MacDosman Kabega, Nakkungu ng’awolerezebwa Nsubuga Mubiru ate Jaden Ashiraf ng’awolerezebwa Ladislus Rwakafuzi.

Buli muwawaabirwa obwedda Omulamuzi Masalu amusomera lulwe nga bw’atemaatema obujulizi obwaleetebwa mu kkooti ku bavunaanibwa abasatu. JADEN ASHIRAF Jaden Ashiraf wa poliisi era yali akolera ku Muyenga Community Police Post. Omulamuzi yalaze bino wammanga ng’amusingisa omusango:

1. Yaweebwa omulimu gw’okufuna abatemu era obujulizi bwakakasa nti yagukola n’ekigendererwa eky’okufuna ssente.

2. Yasooka kufuna muvubuka Alex Andwenya eyamutuusa ku Geoffrey Awilo ne bakola olukwe olusooka olwagaana okutuukirira.

3. Baasooka mu lusuku oluliraanye amaka ga Kasiwukira ne batwala ekiseera nga beetegereza engeri omugagga Kasiwukira gy’afuluma n’okudda awaka.

4. Obujulizi bwaluma Jaden nti mu ntegeka eyasooka; baalina kulumba Kasiwukira ng’ayingira ggeeti y’amaka ge e Muyenga

5. Mu nteekateeka eyasooka, Jaden yalina okulinda nga Kasiwukira ayingira ggeeti olwo amulumbe ku mmotoka era amangu ago, Awiro ne Andwenya bayingirewo batte Kasiwukira nga bakozesa ebiso. Wabula ku lunaku lw’okutuukiriza ‘misoni’ nti Jaden yatuuka kikeerezi nga Kasiwukira amaze okuyingira ggeeti.

6. Wakati wa June ne July wa 2014, Jaden yafuna mukwano gwe omulala Richard Byabakama n’amuyitiramu ddiiru y'okutta Kasiwukira era nga ssente agenda kufuna nsava. Byabakama mu kuwa obujulizi yagamba nti bwe yabuuza Jaden ensonga ettisa Kasiwukira n’amugamba nti yali aleese amayembe mu maka agaali gaagala okusaddaaka omu ku baana ba “Madaamu”. Byabakama yakolagana ne poliisi ne bakwata Jaden ku katambi ng’annyonyola engeri Kasiwukira gye bagenda okumuttamu (akatambi kano bwe kaaleetebwa mu kkooti kaagaana okuzannya nga keekwata).

7. Jaden olwalaba nga Byabakama omulimu agutambuza kasoobo ate ng’ayagala ssente okuva ewa ‘Madaamu’, kwe kuyiiya pulaani y’okutta Kasiwukira nga bamutomeza mmotoka.

8. Ku lunaku Kasiwukira lw’attibwa nga October 17, 2014 omuvuzi wa bodaboda John Bosco Kimansule, yali agenda okukola n’alaba Jaden ng'atudde mu mmotoka Pajero UAE O18A okumpi n'amaka ga Kasiwukira e Muyenga.

9. Kasiwukira abeera atandise okukola dduyiro, Jaden yasimbula emmotoka ku sipiidi n’amutomera mu bugenderevu era olwamala okumutta n’akweka emmotoka. Obujulizi bwa Kimansule bwakwataganye n’emmotoka poliisi gye yazuula ng’ekukunuddwa mu ggalagi.

10. Kimansule eyakeeranga okuvuga omwana okumutwala ku ssomero yawa obujulizi obukakasa nti emmotoka eno yali emaze ennaku eziwerako nga yeetawulira okumpi n’amaka ga Kasiwukira era olumu yagiraba evugibwa etwalibwa mu nnyumba Sandra Nakkungu gye yali apangisa e Muyenga okuliraana amaka ga mulamu wa Kasiwukira.

11. Omulamuzi yagambye nti Jaden okunokolayo Godfrey Kirumira nti yali amugulirira n’obukadde 200 n'emmotoka empya ssinga alumiriza Nnamwandu Sarah Nabikolo ne mutoowe Sandra Nakkungu byali bigambo bugambo ebitaliiko bujulizi bukwatikako. Yakigeraageranyizza ku muntu abbira mu nnyanja era mu kwetaasa n’alengera omusota n’agwekwatako ng’alowooza gwe gunaamutaasa.

12. Omulamuzi Musene yagambye nti kkooti teyaweebwa nsonga lwaki Kirumira yandyagadde okulumiriza mukyala w'omugenzi n’awunzika nti kano yakala ng’akakodyo ka Jaden okuyingiza abantu abalala mu musango ye kennyini gwe yazza.

SARAH NABIKOLO

1. Obujulizi obwasinze okumwejjeereza bwabadde bwa mulamu we John Ggayi Bugembe eyategeeza nti yadde Kasiwukira yafuna omukyala owookubiri, yabatabaganya era ne baddamu okukolagana.

2. Yadde nga Silver Habimaana yawa obujulizi ng’agamba nti Kasiwukira yamulagira amulondoolenga, omulamuzi yagambye nti kino tekimala kukakasa nti Nabikolo yatta bba oba yamulinako ekiruyi.

3. Abajulizi bonna baayogeranga ku Jaden ne Nakkungu nti be baali bagenda okubatuusa ku Nabikolo naye tewali n'omu agamba nti yayogerako ne Nabikolo oba okumusisinkana maaso ku maaso.

4. Abajulizi abalala baagambanga "Madaamu" nti ye yali agenda okubasasula, nga tekiyinza kwesigamwako kubanga “Madaamu” tekitegeeza Nabikolo; waliwo abantu abalala bangi nnyo mu nsi be bayita “Madaamu”.

5. Mu bajulizi 23, omujulizi omu yekka Alex Andwenya ye yali alaga nti yasisinkana Nabikolo n’amulambuza ennyumba n’amuwa n'ekifo w’alina okwekweka okutta Kasiwukira.

6. Wabula oludda oluwaabi lwalemwa okuleeta Andwenya mu kkooti, ne baleeta katambi akaakwatibwa nga Andwenya ayogera ne Nabikolo ku ddiiru y’okutta Kasiwukira ate akatambi kano keekwata ne katazannya mu kkooti era omulamuzi yagambye nti tasobola kwesigama ku katambi kokka okusalira omuntu omusango gw’obutemu ogwetaaga obujulizi obw’enkukunala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...