TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Katikkiro Mayiga attunse n'abeebinja ku ttaka: Bakoonye ennyumba Poliisi n'ebiyingiramu

Katikkiro Mayiga attunse n'abeebinja ku ttaka: Bakoonye ennyumba Poliisi n'ebiyingiramu

Added 16th October 2016

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga olwategeezeddwa nti abeebibanja ku ttaka eriri e Nakaseke basitudde olutalo, ne yeesitula n’abalumba.

 Ekizimbe ekigambibwa okuba ekya Katikkiro Mayiga (mu katono) ekyamenyeddwa.

Ekizimbe ekigambibwa okuba ekya Katikkiro Mayiga (mu katono) ekyamenyeddwa.

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga olwategeezeddwa nti abeebibanja ku ttaka eriri e Nakaseke basitudde olutalo, ne yeesitula n’abalumba.

Yayitidde ku poliisi y’e Nakaseke n’assa omukono mu kitabo kya poliisi era n’aweebwa n’abapoliisi abeegasse ku baserikale abamukuuma ne boolekera ettaka eririko enkaayana ku kyalo Nabbiika mu ggombolola y’e Nakaseke mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Ettaka lino liri ku Block 1029 Plot 6 ne 7 Bulemeezi era kuliko yiika 100 ezaasibiddwaako ssengenge mu nteekateeka eyakoleddwa ofiisi ya Katikkiro ng’ekolaganira ne Buganda Land Board n’ekigendererwa eky’okulikulaakulanya basseeko ffaamu ya Katikkiro.

Wadde abatuuze bakissa ku Katikkiro nti y’abagoba ku ttaka era abadde agendayo ntakera okulambula emirimu egirikolerwako, Mmengo yatangaazizza nti ettaka lino ssi lya Mayiga ng’omuntu wabula lya Bwakatikkiro era alirambula mu buvunaanyizibwa obwamukwasibwa Kabaka okulondoola emirimu gy’Obwakabaka.

KATIKKIRO ATTUNSE N’ABEEBIBANJA

Akanyoolagano ku ttaka lino kaatandika 2014 era abeebibanja balumiriza abantu ba Katikkiro okukozesa eryaanyi ne babakoonera amayumba.

Mu kwesasuza, abatuuze baalumbye ennyumba ebadde yaakazimbibwa ku ttaka lino ne bagikoona ne bagiyiwa ku ttaka. Baatwaliddemu ne kaabuyonjo ne ssengenge eyasibwa okwetoloola ettaka ne bamusala.

Ennyumba eyakooneddwa yazimbibwa ofiisi ya Katikkiro okusuza abakozi abanaddukanya ffaamu.

Abatuuze baagikoonye matumbibudde era kino ky’ekyanyiizizza Katikkiro Mayiga ne yeesitula n’abalumba ku Mmande.

Africano Tebeesigwa omu ku beebibanja abali ku ttaka lino yagambye nti okusika omuguwa kwatandika mwaka guwedde Katikkiro bwe yagendayo n’Abasaveya ne bapunta ettaka lino.

Akakuubagano ak’amaanyi keeyongera ku nkomerero y’omwaka oguwedde nga batandise okulisibako sseng’enge ne batwaliramu ebibanja by’abantu abagambibwa nti beesenzaawo mu bukyamu.

Tebeesigwa yagambye nti tewali kuliyirira kwonna kwakolebwa okuggyako okubatiisatiisa okubasiba nti beesenza ku ttaka mu bumenyi bw’amateeka era ne babalagira okulyamuka.

Tebeesigwa yannyonnyodde ebyabaddewo nga Katikkiro abatuuseeko ku Mmande nga October 10, 2016 ku ssaawa nga 7:00 ez’emisana era yatandikidde mu kubabuuza kana n’akataano.

Tebeesigwa yategeezezza nti: Katikkiro yantunudde mu maaso nga mukambwe nnyo n’ambuuza, “Ani yabasenza wano?” Nabadde sinnayanukula, basajja be ne bayiika ku nnyumba yange ne bagikoona era nabadde ngezaako okubakomako ne bampisaamu empi!

Bwe baavudde ku yange ne balumba eya munnange Cosma Kyombe nayo ne bagikoona nga batugamba nti twesenza ku ttaka lya Katikkiro mu bukyamu.

Baavuddewo batukomekkereza okwamuka ettaka, bwe tuba twagala emirembe. Tebeesigwa yagambye nti mu kusooka baakoona ennyumba z’abatuuze ssatu ate lwe bazzeeyo ku Mmande ne bakoona endala bbiri.

Kigambibwa nti abatuuze be baasooka okukoonera ennyumba be bamu ku baakulembeddemu okumenya ennyumba ku ffaamu y’Obwakatikkiro.

Veronica Nalubowa omu ku batuuze yagambye nti ye ne bba omugenzi Boniface Mugerwa baasenga ku ttaka eryo mu 1970 era balinako ekibanja kya yiika 7 wabula mu kusiba sseng’enge baazitwaliddemu.

Yagambye nti balina obulumi kubanga be bagobwa ku ttaka ate nga mu kiseera kye kimu ne poliisi ebayigga ng’ebavunaana okumenya ennyumba ku ffaamu ya Katikkiro n’okusala ssengenge era abatuuze abawerako baliira ku nsiko nga batya poliisi okubaggalira.

Tebeesigwa gwe baakoonedde akayumba.

 

KATIKKIRO ANNYONNYODDE

Katikkiro Mayiga yategeezezza Bukedde nti yagenze e Nakaseke ku ttaka lino mu buvunaanyizibwa obwamukwasibwa Kabaka okulondoola emirimu n’ebintu by’Obwakabaka.

Yagambye nti ettaka lino liri wansi wa Bwakabaka era kimukakatako nga Katikkiro okulitaasa naddala nga waliwo bannakigwanyizi abaagala okulitwala nga bakozesa olukujjukujju. Yajulizza Buganda Land Board ku bisingawo ku ttaka lino.

Omwogezi wa Buganda Land Board Denis Bugaya yategezezza nti ettaka lino lya Bwakabaka nga liri kw'ebyo ebintu by'Obwakabaka ebyawambibwa mu 1966 ng'era limu kw’eryo eryazzibwa e Mmengo mu 2013.

Kyokka yagasseeko nti liri ku mayiro ya Bwakatikkiro, wabula lirabirirwa Buganda Land Board era y’evunaanyizibwa ku nteekateeka ezirikulaakulanya.

Bugaya yagambye nti olw'okuba ettaka lino lyamala ebbanga nga teriri mu mikono gya Bwakabaka, lyasengebwako abantu mu bitundu ebimu kyokka enteekateeka weeziri okulaba nga beetegereza buli omu engeri gye yajjamu wano balabe eky'okumukolera kuba balina emirimu gy'enkulaakulana gye baagala okukolerawo.

Bugaya yanyonyodde nti " Ng'enkola y'Obwakabaka bweeri twagala buli alina ensonga yonna engumu ajje twogere naye kyokka abo abaagala okutwala eby'obwereere tetugenda kutunula mu nsonga zaabwe kuba lino ttaka ttalize, Obwakabaka lye buteeseteese okukolerako emirimu gy'enkulakulana."

Bugaya yagambye nti Katikkiro okugendayo tekitegeeza nti ettaka lirye ng’omuntu ng’abatuuze bwe balowooza, wabula yagenzeeyo ng'akulira emirimu gy'Obwakabaka era ateekeddwa okulaba ebifo ebyo byonna ebiyinza okukolerwako enkulaakulana asobole bulungi okuginnyonyola ne bannamikago.

Ate ku ky'okumenyebwa kw'ebintu, Bugaya yagambye nti mu kusooka abatuuze baakola omusango gw’okumenya ebintu bya nnannyinni ttaka bye yateekawo okukugira ettaka lino; kyokka n’agamba nti tewali kintu kya batuuze kye baayonoonye.

Yagambye nti Obwakabaka tebulina muntu yenna gwebugenderera kulumya mu nsonga eno wabula abantu basaanye okukimanya nti Obwakabaka nabwo bubeera n’ebyabwo era ebirina okukuumibwa ku lw'obulungi bw'abantu baabwo.

ENKAAYANA KU TTAKA LINO

Sam Ssebalamu amyuka omwami wa Ssaabasajja atwala ggombolola y’e Nakaseke, yagambye nti ettaka lino lyadda mu ofiisi ya Katikkiro mu 2014 era ne lipuntibwa mu 2015 ne lisibwako ssengenge.

Kyokka Ssentebe w’akakiiko k’eby’ettaka mu Disitulikiti y’e Nakaseke, Geoffrey Mukiibi yagambye nti ettaka eryo Disitulikiti y’e Nakaseke.

Okusinziira ku kyapa ssentebe wa ggombolola y’e Nakaseke, John Mugerwa kye yalaze bannamawulire, ettaka erikaayanirwa lye limu ku ttaka eriwerako yiika 800 eisangibwa ku BLOCK 1029 Nabbiika Estate mu Bulemeezi.

Mugerwa yagambye nti ettaka lino lyerimu ku lyali limanyiddwa ng’ettaka lya kkwiini ( Crown Land) oluvannyuma eryafuulibwa Public land nga Uganda efunye obwetwaze mu 1962.

Mugerwa yanenyezza abamu ku baami ba Ssaabasajja mu Nakaseke be yagambye nti beenyigidde mu kubuzaabuza abantu nga babalimba nti ettaka lya eryo lya Mayiro ya Katikkiro.

Bino byonna birese abeebibanja batabuddwa ku kiddako. Omuduumizi wa poliisi mu Disitulikiti y’e Nakaseke, Justus Asiimwe yagambye nti enkaayana ku ttaka eryo zirudde okuva Katikkiro lwe yasiba ssengenge omwaka oguwedde, kyokka nga wakyaliwo okubuzaabuzibwa ani mutuufu ku njuuyi zonna.

Asiimwe yagambye nti poliisi eriko abatuuze babiri b’enoonya b’eteebereza okuba nga balina kye bamanyi ku kumenyebwa kw’ennyumba y’oku ffaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...