TOP

Taata asse omwana we ow'omwaka ogumu: KITALO!!!

Added 19th October 2016

TAATA akkakkanye ku mutabi we ow’omwaka ogumu n’ekitundu n’amugwa mu bulago n’amutuga n’oluvannyuma n’amufumita effumu mu lubuto ebyenda ne bivaayo.

 Omwana Jordan eyatiddwa. Ku ddyo ye Kisuule

Omwana Jordan eyatiddwa. Ku ddyo ye Kisuule

TAATA akkakkanye ku mutabani we ow’omwaka ogumu n’ekitundu n’amugwa mu bulago n’amutuga n’oluvannyuma n’amufumita effumu mu lubuto ebyenda ne bivaayo.

John Kisuule 21, ow’e Kabuuma mu munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo ng’akola gwa kuvuga bodaboda ku siteegi y’e Ggaba okuliraana KK Beach ye yasse mutabani we mu ntiisa.

Jamilah Nakanjakko, mukyala wa Kisuule yadduse ku poliisi y’e Kibiri ku ssaawa 2:00 ez’ekiro ku Mmande n’aloopa bba eyabadde amutabukidde ng’ayagala kumugwa mu bulago amutuge.

Omwana waabwe yamulese mu nnyumba ng’adduka okwetegula ekibabu.

Yagenze okukomawo awaka nga bba Kisuule aswakidde ate okutunula ku mabbali ng’alaba omwana we agahhaalamye mu kitaba ky’omusaayi nga n’ebyenda biri wabweru, nga kibbebi kyonna kiboyaana mu bulumi.

Nakanjakko yakubye enduulu eyasombodde abantu, era poliisi yasanze akaseera akazibu okusaba Kisuule aggulewo oluggi batwale omwana mu ddwaaliro.

Oluvannyuma baakozesezza eryanyi ne bamenya oluggi ne bayingira mu nnyumba. Omwana baamuddusizza mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi, era yafudde yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Abatuuze baavudde mu mbeera nga baagala okukoona ennyumba ya Kisule bagisuule ku ttaaka olw’okuba abadde abeeyisizaako bubi ng’asusse okwelaguzza nga kino kimuviiriddeko n’okutta omwana we.

Kisuule olwatuusiddwa ku poliisi yagaanyi okubaako kyayogera nga mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Katwe.

Mukyala we Nakanjakko yategeezezza poliisi nti bba aludde ng’atawaanyizibwa empewo z’ekika era abooluganda lwe baategeezezza nti nga tannaba kutta mwana effumu lyabadde limulemedde mu ngalo ne basalawo bagendeko ku musawo w’ekinnansi e Ggaba eyabayambyeko era effumu ne limuva mu ngalo n’adda ewaka.

Kyokka yabadde yaakakomawo ate n’abaka effumu lye limu n’afumita omwana. Abamu ku batuuze baakitadde ku njaga n’ebitamiiza bye bagamba nti Kisuule abadde abikozesa.

Akulira ebyokwerinda e Kabuuma, John Willy Kasule yategeezezza nti amasabo gasusse mu kitundu kino.

Aduumira poliisi y’e Katwe Fertile Lwamusaayi yategeezezza nti baakutte Kisuule ne bamuggulako omusango gw’okutta omuntu ku fayiro nnamba SD: REF 20/17/10/2016.

Yasabye abantu obutagendera ku ddogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakadde abasinga ob...

Omu ku bakadde ababadde basinga obukulu mu Uganda afudde!

Nantume ng'akaaba

Nantume atulise n'akaaba bw...

Omuyimbi Moureen Nantume atulise n'akaaba bw'ajjukidde engeri Katonda gye yamuggya mu bwayaaya n'amufuula sereebu...

Kangave ne Deborah nga bamema

Eyali omwogezi wa Poliisi a...

Eyali omwogezi wa poliisi mu bitundu okuli e Luweero ne Masaka, Paul Kangave ayanjuddwa mu bazadde ba mukyalawe...

Katikkiro Charles Peter Mayiga n'omuyimbi Carol Nantongo

Carol Nantongo afe essanyu ...

OMUYIMBI Carlo Nantongo kate afe essanyu Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yamuwaanye nti ayimba ‘ebiriyo'. ...

Nina Roz ne Daddy Andre nga bamema

Nina Roz asekeredde abamuye...

" NG'ENZE ne Andre abalala bali ku byabwe. Okukyala kuwedde kati mulinde kwanjula na mbaga," bwatyo omuyimbi Nina...