TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Namirembe esonze ettoffaali okuzimba ettendekero ly'abaawule

Namirembe esonze ettoffaali okuzimba ettendekero ly'abaawule

Added 20th October 2016

Namirembe esonze ettoffaali okuzimba ettendekero ly'abaawule

 Bishop Luwalira ng'akwasibwa ensimbi

Bishop Luwalira ng'akwasibwa ensimbi

NG’OMU ku kaweefube ow’okuddabiriza ettendekero ly’abaawule erya Martyrs seminary Namugongo n’ettendekero ly'abasomesa erya Bulopa TTC,obulabirizi bwe Namirembe bwongedde okusonda ettoffaali  okusobola okuyambako ku kirimu gino.

Olunaku lw’eggulo omulabirizi w’e Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira yeyakulembeddemu  omulimu guno mu kkanisa ez’enjawulo ezikola obusumba bw’e Nansana ng’ali wamu n’omusumba  w’obusumba bw’e Nansana Rev James Bukomeko ssaako ababulizi mu kkanisa ez’enjawulo.

Bp.Luwalira yatandikidde ku kkanisa y’obusumba bwe Nansana eya St Stephen gye baaweredde ensimbi  ezaasobye mu bukadde 6 nga kuno omubaka wa munisipaali ya Nansana Wakayima Musoke Nsereko  obusawo bwa seminti 15 okuddukirira omulimu guno.

Wano Bp.Luwalira weyasabidde abantu okuwaayo nga tebakakiddwa mu kuddukanya emirimu gya  mukama kibayambe okuwonya ensonyi eri abo ababa babakyaliddeko.

Oluvannyuma omulabirizi yasabidde abayizi abagenda okutuula ebibuuzo byabwe eby’ekibiina eky’omusanvu ku ssomero ly’obusumba era wano we yabasabidde okufaayo okusoma ennyo ebibasomeseddwa kibayambe okuyita obulungi bye bagenda okukola kitangaaze ku biseera byabwe  eby’omumaaso.

Omulabirizi yeyongeddeyo ku kkanisa ya St.Luke e Nabweru gye baamutikkidde ettoffaali lya kakadde  kamu n’emitwalo 70 olwo ne yeyongerayo ku kkanisa ya St.Johns e Kibwa gye baamutikkidde ettafaali  lya kakadde kamu n’ekitundu era wano weyasabidde abakkiriza okukola emirimu gya mukama  okutandikira ku kkanisa okutuukira ddala ku busabalabirizi.

Omulabirizi yeyongeddeyo ku kkanisa ya St Mark Kakumba e Wamala abakkiriza gye baamuweredde  akakadde kamu n’ensimbi ezigwamu era nabebaza okukoganira awamu naye mu buli mbeera.

Yayongedde n'ategeeza nti nga yakayingira yatandikira ku lutikko y’e Namirembe olwo nadda ku bintiu  ebirara eby’obulabirizi era nga wano weyakutiridde abakkiriza okusooka okufangayo ku mirimu  gy’ekkanisa olwo ebirara biddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Micheal Kinene Akomyewo na ...

Micheal Kinene Akomyewo na Nkuba mpya Omuyimbi Micheal Kinene akomyewo na nkuba mpya oluvannyuma lw'okumala...

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...