TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sharitah abotodde ekyama ekyamuddusizza mu bufumbo bwe obw'empeta; Bba azizza omuliro n'amulumiriza

Sharitah abotodde ekyama ekyamuddusizza mu bufumbo bwe obw'empeta; Bba azizza omuliro n'amulumiriza

Added 20th October 2016

Sharitah abotodde ekyama ekyamuddusizza mu bufumbo bwe obw'empeta; Bba azizza omuliro n'amulumiriza

 Sharitah ne bba Mutaawe ku lunaku lw'embaga yaabwe

Sharitah ne bba Mutaawe ku lunaku lw'embaga yaabwe

SHARITAH yafuuka Mazzimawanvu ng’erinnya lye era ennaku zino avuga Prado TX egambibwa nti y’emu ku by’abatabudde nga bba alumiriza omugagga omu akola emigaati nti ye yagigulira Shalitah era buli lw’ava ku ttivvi asibira wa mugagga nga bacakalako bombi nga tannadda waka.

EBYABATABUDDE NE BBA

Shalitah nga kati akola ku Delta TV yagambye nti: Okusinziira ku butakkaanya bwe tubadde tutuseeko, tubadde tutuuse okuttiηηana. Naye kati mwebale kutusabira, kkooti yakkirizza ne twawukana kati ndi wa busa.’

Mutaawe alumiriza Shalitah okuba n’omusajja omugagga mu Kampala amuteekamu ssente ng’ono agambibwa nti ye yamugulidde n’emmotoka Prado TX n’amuggya mu Noah gy’aludde nayo.

Nti kino kye kimu ku byasembyeyo okutabula Mutaawe nga yeewuunya gye yaggye ssente okugula mmotoka eri mu bukadde 50 ng’enfuna ye si ya maanyi. Shalitah naye agamba nti Mutaawe abadde alabankana, okumukuba, obutalabirira baana n’obutamuwa kitiibwa.

Buli omu bwe yalumirizza munne ekimala, Mutaawe yavudde awaka mu busungu n’asengukira e Mutundwe mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala n’aleka Shalitah mu maka gaabwe e Kyanja mu disitulikiti y’e Kampala n’abaana baabwe babiri.

Shalitah yagattibwa ne Richard Mutaawe mu August wa 2011 ku Lutikko e Namirembe mu biseera ebyo ng’akyakola ku tivvi ya Bukedde 1, pulogulaamu y’emikolo n’embaga. W’osomera bino nga baamaze dda n’okugattululwa mu bufumbo.

 SHALITAH AYOGEDDE

Shalitah yategeezezza Bukedde ku Mmande nti; Ekyaffe kibadde kisusse we kyandikomye. Buli lunaku nga wabaawo ekipya ekitutabula ne tuyomba. Entalo zibadde zifuuse entalo ng’abazadde ze batuulamu ziba tezinaggwa ng’empya zibalukawo kwe kusalawo tugattululwe.

Obufumbo bwaffe bwaggwaawo dda mu mitima wadde ng’abantu baludde nga balowooza nti tuli bulungi. Twagattuluddwa kati nnina emirembe gyange naye alina egigye.

Okusinga okwetta, twasalawo tugattululwe kyokka abantu bannenya naye ate abannenya ate bwe mufuna obuzibu be bamu abandigambye nti lwaki tebaayawukana okusinga okwetusaako obulabe. Nze nnasalawo kunoonya ssente okusinga okugenda n’ebitagenda.

Emmotokanze nagyegulira.

BAASOOKA KU POLIISI

Bukedde yatuukiridde Mutaawe n’ategeeza nti, si musanyufu talina na by’ayinza kwogera ku nsonga ezo.Wabula ab’engandaze baategeezezza nti, Shalitah yawawaabira Mutaawe ku poliisi y’e Kira Road mu December omwaka oguwedde n’addayo mu June omwaka guno ng’amulanga obutalabirira baana, okukomangawo ekiro n’amukuba n’ebirala.

Mutaawe yennyonnyolako ng’agamba nti, Shalitah alina omugagga amupika okwawukana naye bagabane ebintu alyoke yeegazaanye n’omusiguze. Poliisi bwe yalemwa, baabituuzaamu aba famire nabo ne bibalema nga n’abasinga banyiivu olwa Shalitah okwagala omusajja azinirenga ku ntoli ze kubanga ye ‘sereebu.’

Wabula abooluganda baggwaamu amaanyi nabo bwe baazuula nga Mutaawe yali yayagala ennyo Shalitah era bwe yali akaabira ku poliisi, gye yategeereza nga bwe yamuweererako okuva mu S4 okutuuka ku yunivasite nga n’omwana gwe yazaala nga tebannasisinkana kati ateeberezebwa okuba mu siniya ey’okubiri naye y’abadde amuweerera.

(Mutaawe yalina ku ssente ze yaggya ku kyeyo e Bungereza.) Ekisinga okubaluma kwe kuba nga baganda ba Mutaawe baamugaana okuwasa Shalitah nga tategedde nsonga yamwawula na musajja gwe yazaalamu omwana eyasooka. Shalitah alina omwana omukulu asukka emyaka 14 gwe yazaala ng’akyasoma mu siniya eyookusatu ng’ono si wa Mutaawe era ye alina abaana basatu.

 SHARITAH AGENDA MU KKOOTI;

Ensonga bwe zaalema, Shalitah yagenda mu kkooti e Nakawa n’agisaba baawukane nga Mutaawe takyamusobola.

Shalitah yategeezezza Bukedde nti, kkooti yabakkirizza okwawukana wabula abooluganda abataayagadde kwatuukirizibwa mannya baategeezezza nti, omusango tegunnasalwa ne ku Mmande wiiki ewedde baabadde ku kkooti       Shalitah bye yasabira Mutaawe ku poliisi abimuwenga buli wiiki;

200,000/- ez’okugulira abaana emmere buli wiiki.

Fiizi z’abaana babiri. Ssente z’emmotoka etwala abaana ku ssomero.  Okubajjanjaba ne kalonda omulala.

Mutaawe okulaba ku baana, alina kukikola buli Ssande ate si mu maka gaabwe e Kyanja wabula ekifo ekirala.

Mutaawe musuubuzi w’amasimu ku kizimbe kya Zainab Aziz Emporium ku Wilson Road mu Kampala kw’agatta n’okusuubula ettaka n’amayumba.

Ettaka ly’atunda liri mu Wakiso, Mende, Kawanda n’e Kiwenda. Kyokka ery’e Kiwenda, Shalitah lye limu ku ly’ayagala kkooti emuwe agatteko n’ennyumba ku lw’abaana ba Mutaawe. Ensonda zigamba nti Mutaawe bwe yaligula yalissa mu mannya g’abaana be n’ekyapa Shalitah yakitwala dda, alinze buyinza bujjuvu.

 SHARITAH Y’ANI?

Shalitah yaakamala emyaka mukaaga ku ttivvi nga yasookera ku Bukedde. Mu kiseera kino akola ku Delta TV ne leediyo ya Super, pulogulaamu ya Kasenda bazaana akawungeezi. Agamba nti ‘Mazzi mawanvu’ erinnya lye yeetuuma bwe yali akyakola ku Metro FM ng’ayagala nnyo okugenda ewala mu by’akola ng’amazzi amawanvu.

Alina ne saluuni, Shalitah Hair Clinic ku Nasser road. Bwe yagattibwa ne mutaawe erya Namusoke n’alita n’afuuka Mutaawe.

Eyali Omusiraamu yadda mu Bukrisitaayo ne yeggyako n’erya Sharitah n’afuuka Charlotte kyokka ng’ebiseera ebisinga anyumirwa okweyita Shanitah ng’aggyeeko ‘r’ n’agisikiza ‘n’.

Embaga ye y’emu ku zikyasinze okunnyuma olw’okuseeyeeyeza ku nnyanja e Kawuku Victoria Park ku lw’e Ntebe gye yali nga bwe bawuubira ku bagegenyi baabwe omwali ne Gen. Katumba Wamala eyabakubiriza okwekuuma.

Ebyo okubaawo, yasooka kwanjula Mutaawe mu July wa 2010 Ng’emikolo gyakaggwa, Shalitah yategeeza Saturday Vision nti, okusisinkana Mutaawe yali alowooza nti agenze kumukuula yeekanga musajja mukkakkamu, omulungi asaana okufumbirwa n’akikola.

Embaga okubaawo, nga balina omwana omu omulala yali wa mbaga.

BASEREEBU ABAKAZI ABAZZE BALEMWA OBUFUMBO

Cindy mu February wa 2015 yayawukana ne bba, Mario Brunette ng’agamba nti mulimba nnyo. Sophie Nantongo yanoba ewa Abdul Mumiru Kagoma n’afumbirwa Sam Ssimbwa mu 2011 ate mu 2012 ne bakola okwanjula.

Iryn Namubiru ne bba, Frank Morel baayawukana mu October wa 2012 ng’amulumiriza okumukuba.

Stecia Mayanja yanoba mu maka ga Fred Kitaka mu October wa 2012 n’afumbirwa Abdul Mubiru mu 2015.

Dr. Tee yalemagana ne Betty Mpologoma n’awasa Grace Malayika ate naye n’amulemwa n’awasa Mariane Bashabire ali ku kyeyo e Bungereza.

Juliana Kanyomozi yayawukana ne Amon Lukwago

 Cindy mu February wa 2015 yayawukana ne bba, Mario Brunette ng’agamba nti mulimba nnyo.  Sophie Nantongo yanoba ewa Abdul Mumiru Kagoma n’afumbirwa Sam Ssimbwa mu 2011 ate mu 2012 ne bakola okwanjula.  Iryn Namubiru ne bba, Frank Morel baayawukana mu October wa 2012 ng’amulumiriza okumukuba.  Stecia Mayanja yanoba mu maka ga Fred Kitaka mu October wa 2012 n’afumbirwa Abdul Mubiru mu 2015.  Dr. Tee yalemagana ne Betty Mpologoma n’awasa Grace Malayika ate naye n’amulemwa n’awasa Mariane Bashabire ali ku kyeyo e Bungereza.  Juliana Kanyomozi yayawukana ne Amon Lukwago BASEREEBU ABAKAZI ABAZZE BALEMWA OBUFUMBO

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....