TOP

Ebintu ebitalina kubula mu mmotoka mu nkuba

Added 20th October 2016

Ebintu ebitalina kubula mu mmotoka mu nkuba

ABAVUGA ebidduka basaanye okwetegekera enkuba etonnya ng’esuubirwa okweyongera olwa museenene n’amakubo amabi.

Mmotoka ezisomba ebirime n’ebyamaguzi ebirala okuva oba okudda mu byalo awali enguudo ezitali nnungi, n’abo abali mu bitundu ebirala omuli ne Kampala omutera okubeera omujjuzo gw’amazzi zirina nabo balina okwetegekera embeera eno. Ddereeva agenda mu byalo ateekwa okubeera n’ebyeyambisibwa mu buseerezi ebisookerwako omuli enkumbi oba ebitiiyo wadde nga birinaokuterekebwa mu kifo ekyekusifu bireme kubeera bya bulabe omuli ababbi.

Moses Bugembe, munnakibiina ekigatta baddereeva ba loole ne bannannyini zo ekya Regional Lorry Drivers and Transporters Association agamba nti okuvuga mu buseerezi oba mu nguudo embi kyetaagisa obukugu obw’enjawulo.

Amazzi bwe gaba amangi ng’emipiira gya mmotoka gibuliramu, tekyandibadde kya magezi kugeetantala kuba mmotoka eyinza okugwaamu.

Simon Kafumbe, makanika wa mmotoka mu Ndeeba mu Kampala agamba nti, ebiseera ebimu naddala mu budde bw’enkuba amazzi gatera okwonoona waya z’amasanyalaze ga mmotoka nga kitegeeza nti obusiimuula amazzi ku ndabirwamu buyinza okugaana okukola ate nga mmotoka eri mu kitundu kyabulabe.

Wano oyinza okutambula ne sabbuuni w’ekitole oba ow’obuwunga ne kikutaasaako okulongoosa endwabirwamu n’olaba gy’olaga.

Ttooki teyandivudde mu mmotoka naddala ezo ezitambula amatumbibudde. Beera n’omupiira gwa sipeeya ate nga mulimu jjeeke ne sipaana Mu nkuba ey’amaanyi omuli ne kibuyaga kyandibadde kya magezi ddereeva n’agisimba ku mabbali aweetadde nga tewali miti oba waya za masannyalaze eziyinza okuggigwako ate ne zivaako akabenje.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...