TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mutebile anyonnyodde enzirukanya ya Crane Bbanka oluvannyuma lw'okutwalibwa Bbanka enkulu

Mutebile anyonnyodde enzirukanya ya Crane Bbanka oluvannyuma lw'okutwalibwa Bbanka enkulu

Added 20th October 2016

Mutebile anyonnyodde enzirukanya ya Crane Bbanka oluvannyuma lw'okutwalibwa Bbanka enkulu

BANKA ya Uganda Enkulu yedizza Crane Bank oluvannyuma lwokukizuula ng’ebadde tekyalina ssente ekintu ekibadde kiteeka abaterekayo ssente mu bulabe.
 
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa Gavana wa Banka  ya Uganda Enkulu, Emmanuel Tumusiime Mutebile ategeezezza nti okutandika leero nga October 20, 2016 be bagenda okubeera n’obuvunanyizibwa bw’okuddukanya emirimu gya Crane Bank.
 
Ategeezezza nti ekibakozesezza kino, bamaze kukizuula nti Bank eno tekyalina ssente zigisobozesa kutambuza bulungi mirimu, era ng’okugireka kibadde kyabulabe eri abantu abaterekayo ssente.
 
Bbanka Enkulu eronze maneja omuggya agenda okuddukanya emirimu gya Bank, era olukiiko olukadde olwa Crane Bank ne luyimirizibwa bunnambiro.
 
Mutebile agumizza abantu nti Crane Bank nti Banka eno ejja kusigala nga nzigule, kyokka ng’emirimu girabirirwa Bank Enkulu.
 
 Bank Enkulu egumizza abantu nti ejja kugenda mu maaso n’okukuuma ssente za bantu bonna abatereka mu Crane Bank.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutaka Walusimbi alagidde ...

OMUKULU w'ekika ky'effumbe Omutaka Yusuf Mbirozankya Kigumba Walusimbi alagidde olukiiko olufuzi olw'ekika kino...

Henry Ssekyewa eyattiddwa. Mu kifaananyi ekinene y'ennyumba ya Livingstone Zziwa eyasaanyiziddwaawo ng'abatuuze bamulumiriza okuba n'ekkobaane ku kufa kwa Ssekyewa

Bamusse mu bukambwe lwa nka...

ABATUUZE ku kyalo Nakikonge ekisangibwa mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero baguddemu ekyekango...

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...