TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baleese obujulizi obupya okuzza muka Kasiwukira mu kkomera

Baleese obujulizi obupya okuzza muka Kasiwukira mu kkomera

Added 23rd October 2016

EBYA nnamwandu wa Kasiwukira, Sarah Nabikolo tebinnagwa, Gavumenti bw’esabye Kkooti Ejulirwamu eddemu yeetegereze fayiro y'omusango n'ensonga omulamuzi Masalu Musene kwe yasinziira okumwejjeereza.

Nnamwandu wa Kasiwukira, Sarah Nabikolo (asooka ku kkono) talina musango

Nnamwandu wa Kasiwukira, Sarah Nabikolo (asooka ku kkono) talina musango

EBYA nnamwandu wa Kasiwukira, Sarah Nabikolo tebinnagwa, Gavumenti bw’esabye Kkooti Ejulirwamu eddemu yeetegereze fayiro y'omusango n'ensonga omulamuzi Masalu Musene kwe yasinziira okumwejjeereza.

Omuwaabi wa Gavumenti omukulu ye yawaddeyo okusaba kuno ng’agamba nti si mumattivu n'engeri omulamuzi Masalu Musene gye yakwatamu omusango guno n’atuuka n'okuyimbula Nabikolo ng’agamba nti tewali bujulizi bumatiza nti nnamwandu yeenyigira mu kutemula bba nga October 17, 2016.

Nga October 12, 2016 omulamuzi Masalu yejjeereza Nabikolo omusango gw’okutta bba ng’agamba nti abajulizi bonna 23 abeesigamwako oludda oluwaabi tewali n'omu yategeeza kkooti nti yasisinkana Nabikolo n’amuwa omulimu gw'okutta bba Kasiwukira yadde okulaga kkooti ebyawongo ebyali byogerwako nti bye byavaako omukazi okwekyawa atemule bba ng’atidde nti bw’atamwesooka, amayembe omugenzi ge yali aguze gaali gaakutta aba famire nga gatandikira ku mwana omukulu.

Nabikolo yali awolerezebwa looya MacDusman Kabega eyafuba okukuba ebituli mu bujulizi obwaleetebwa okumusingisa omusango.

OBUJULIZI GAVUMENTI KWE YEESIGAMYE

Omuwaabi wa Gavumenti alaze nti obujulizi bwe baaleeta bwali bumala okusingisa Nabikolo omusango gw'obutemu era beetegefu okukakasa Kkooti Ejulirwamu nti Nabikolo yeenyigira mu butemu buno era ye yapangisa abatta bba.

l Bagenda kwesigama ku katambi akaaleetebwa mu kkooti ng’omutemu Alex Adwenywa alumiriza Nabikolo nti yamulambuza ennyumba ya bba esangibwa e Muyenga n’amulaga ne w’aneekweka ateege Kasiwukira amutte.

l Mu kuwulira omusango balooya ba Gavumenti okwali Alice Susan Kawuka ne Samalie Wakooli bannyonnyola omulamuzi nti, omuvubuka Adwenywa yalumiriza Nabikolo okumuwa ddiiru y’okutta bba era yalabwa mu katambi ng’asonga mu Nabikolo naye nga Nabikolo teyeewozaako ekiraga nti bye baali bamulumiriza yali abimanyiiko.

l Bawakanya engeri omulamuzi gye yagoba akatambi ng’agamba nti oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta Adwenywa eyali alumiriza Nabikolo; kubanga obujulizi bw’akatambi ate bwe bumu ku mulamuzi bye yakozesa okusingisa Ashraf Jaden omusango gwe gumu.

l Bagamba nti kubeera kwekuba ndobo okusingisa Sandra Nakkungu ne Jaden emisango ate ng’obujulizi bwonna bwalaga nti baabatuma butumi, ate obujulizi gwe bulaga nti ye yabatuma ne yejjeerezebwa.

l Omuwaabi wa Gavumenti agamba nti ekigendererwa ky'okutta Kasiwukira, Nabikolo ye yakirina kubanga obufumbo bwabwe bwali butabuse nga buli omu yeekengera munne. Nakkungu ne Jadeni baasibwa emyaka 20 buli omu olw'okutta Kasiwukira.

Omulamuzi yagamba nti emmotoka ya Nakkungu Pajero UAE 018A Jaden gye yakozesa okutomera Kasiwukira n'amutta.

Abajulizi Richard Byamukama ne Geoffrey Awiro baategeeza kkooti nti Nakkungu ne Jadeni baabawaako omulimu gw'okutta Kasiwukira nga babasubizza nti 'Madam' ye yali ayagala omulimu gukolebwe era yali waakubasasula bulungi kyokka obujulizi buno omulamuzi yabugoba n’agamba nti kkooti tesobola kukakasa nti mu kwogera ‘Madam’ baali bategeeza Nabikolo kubanga ba Madam bangi nnyo mu nsi.

Wano gavumenti w’esinzidde okuwakanya omulamuzi Masalu olw'okusiba ‘ababaka’ kyokka n’aleka eyabatuma okulya obutaala era esabye Kkooti Ejulirwamu yeetegereze obujulizi eragire Nabikkolo addemu okuggalirwa.

Nakungu ne Jadeni abaasingisibwa omusango nabo baajulira nga bayita mu munnamateeka Ladislaus Rwakafuzi nga bawakanya eky’okusingisibwa omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...

Nantale ne Batulumaayo

Ow'emyaka 77 alumirizza muk...

MUSAJJAMUKULU ow’emyaaka 77, omutuuze ku kyalo Kyambizzi ekisangibwa e Mwererwe-Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso...

Kiwanda ( ku kkono), Katikkiro Mayiga ne Ruth Nankabirwa nga bali e Mmengo.

Ekyatutte Kiwanda ne Nankab...

EYAAKALONDEBWA ku bumyuka bwassentebe wa NRM atwala Buganda, Godfrey Kiwanda asitudde ttiimu y’aba NRM omuli ne...

Kibalama ne Kyagulanyi nga bagasimbaganye mu kkooti

Bobi ne Kibalama bagasimbag...

Eyali akulira ekibiina kya National Unity Reconciliation and Development Party [NURP] ekyakyusibwa ne kifuulibwa...

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...