TOP

Abasumba Bannayuganda 2 bafiiridde mu kabenje e Cameroon

Added 25th October 2016

ABASUMBA Bannayuganda babiri baafiridde mu kabenje ka tuleyini e Cameroon.

Paasita Nathan Tumwine, omu ku baafiiridde mu kabenje k'eggaali y'omukka e Cameroon

Paasita Nathan Tumwine, omu ku baafiiridde mu kabenje k'eggaali y'omukka e Cameroon

ABASUMBA Bannayuganda babiri baafiridde mu kabenje ka tuleyini e Cameroon.

Akabenje kagenze okugwawo ng’abooluganda babalindiridde okudda kyokka nga babadde bayongezezzaayo olugendo lwabwe.

Omusumba Nathan Tumwine yafudde ne munne Nicodemus Niwasiima 49, nga yamaze essaawa mukaaga mu ddwaaliro nga ajjanjabibwa olw’ebisago eby’amaanyi bye yafunye.

Niwasiima abeera Kawempe Mbogo ng’asabira mu kkanisa ya World Trumpet Mission ey’Omusumba John Mulinde ne ku kizimbe kya Qualicell Plaza mu Kampala ate Tumwine abadde nnannyini kkanisa ya City Prayer Tower e Mbarara nga basabira ku lusozi lwa Prayer Nations e Mbarara.

Bombi babadde basumba abatambula amawanga ag’enjawulo nga babuulira enjiri.

Omu ku booluganda lwe, Paul Mwangutsya yagambye nti abasumba babadde baayongezaayo nga baakudda nga November 5, 2016.

“Abasumba bombi nze nabavuga okubatwala ku kisaawe e Ntebe nga bagenda e Cameroon.

Omusumba Ninsiima yankubira n’antegeeza nga bwe bagenda okusigalayo okumala ebbanga nga bakyabuulira enjiri”, bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...