TOP

'Omuyindi abadde ankaka omukwano'

Added 7th November 2016

Nakityo yagambye nti bwe yatandika okukola ku Shell mu 2011 yasabira ne kizibwe we ekifo ne bakimuwa. Waayita ekiseera kitono n’atandika okuwulira bakozi banne abawala nga beemulugunya ku bboosi nti buli lwe bagenda mu ofiisi abatigaatiga.

 Nakityo eyatutte omusango mu kkooti. Ku ddyo ye Lobo

Nakityo eyatutte omusango mu kkooti. Ku ddyo ye Lobo

NAKITYO bwe yafuna omulimu ku Shell yacacanca, wabula kati attunka ne Maneja Omuyindi gw’alumiriza okumukabassanya.

Allen Nakityo ayagala kkooti eyise ekiragiro ekigoba maneja ono mu ggwanga bamuzzeeyo e Buyindi olw’enneeyisa etyoboola ekitiibwa ky’abakyala.

Bashir Lobo akulira Shell Jinja Road (okuliraana Kitgum House) y’avunaanibwa okukabassanya omukozi we era omusango gwatwaliddwa mu kkooti e Nakawa, Lobo n’aweebwa ennaku 15 okuwaayo okwewozaako.

Nakityo yagambye nti bwe yatandika okukola ku Shell mu 2011 yasabira ne kizibwe we ekifo ne bakimuwa. Waayita ekiseera kitono n’atandika okuwulira bakozi banne abawala nga beemulugunya ku bboosi nti buli lwe bagenda mu ofiisi abatigaatiga.

Yasooka kubiyita bya lusaago okutuusa kizibwe we gwe yali afunidde omulimu (amannya g’omuwala ono galekeddwa) lwe yamuyita nga n’amaziga gamuyitamu n’amuzza ebbali n’amutegeeza nti, “Maneja ankozesezza.”

Yamunnonnyola engeri Maneja gye yamuggalira mu ofiisi ye ku Shell n’amukaka omukwano; era mu buswavu omuwala ono n’ava ne mu ggwanga n’agenda ku kyeyo e Dubai. Omuwala ono yagaana n’okuloopa ng’atya okuswala.

Nakityo yagambye nti ebyatuuka ku kizibwe we, naye byatandika okumutuukako ku ntandikwa ya 2014, nga Maneja Lobo amutigaatiga buli lw’aba agenze mu ofiisi era ku nkomerero y’omwaka oguwedde yasimattukidde watono.

Maneja nti yakozesa akakodyo k’okuyitanga omuwala ono mu ofiisi ng’obudde butandise okuziba ate n’amuwa emirimu gy’okubala ebitabo era we yagimaliranga ng’obudde bukunidde ate nga n’abakozi abalala bagenze, olwo Maneja n’amufunza awatali adduukirira.

Kyokka olumu nti kimutikka n’asibira abawala abalala mu ofiisi emisana.

YAMUKUTTE KU KATAMBI

Nakityo agamba nti bwe yalaba Lobo amwezinzeeko enfunda eziwera n’asalawo ategeezeeko muwala munne gwe babadde bakola naye era ne basala amagezi agamutega essimu ne bakwata akatambi era kano ke katwaliddwa mu kkooti.

Akatambi kano kalaga Lobo ng’aggyeeyo ebitundu by’ekyama abikulukuunya ku Nakityo eyali yeewolereza nti, “ndeka bboosi”.

Nakityo yategeezezza nti ensonga zino yasooka kuziroopa ku poliisi e Kireka eyaweereza fayiro ku CPS wabula n’afutyankibwa ne fayiro SD 13/06/11/2015 eyali egguddwaawo n’eggalwa ng’abaserikale bamukase okukkiriza okuliyirirwa obukadde 20 kyokka nga ku zino baamuwaako obukadde 5 ne bamuwaliriza akole siteetimenti eggalawo fayiro.

Bannamateeka ba Ambrose Tebyasa & Co. Advocates nga bano Nakityo be yayiseemu okuwaaba baategeezezza kkooti nti ekyakolwa poliisi kimenya mateeka kubanga omusango guno gwa nnaggomola ate nga teguyamba Nakityo yekka wabula gutaasa n’abawala abalala abakabassanyizibwa bakama baabwe.

Kino ky’ekyabawalirizza okuggulawo omusango ogw’engassi wabula nga basabirako kkooti eyise ekiragiro ekigoba Lobo mu ggwanga okutaasa abawala abalala abayinza okugwa mu mitego gye.

Nakityo yagambye nti afunye ebizibu bingi okuva lwe yasalawo okuwaabira Omuyindi ono omuli okutiisibwa n’okumulemesa buli kintu ky’aba agezaako okukola okuzza obulamu bwe obuggya.

MANEJA YEEWOZEZZAAKO

Lobo yayise mu bannamateeka ba Rwabwogo & Co. Advocates n’awaayo okwewozaako nga October 28, 2016 nga yeegaana eky’okukabassanya Nakityo.

Yagambye nti Nakityo yali mukozi we wabula yatandika mpola okukola ebintu ebisikiriza Lobo omuli okuyingira mu ofiisi ng’atadde ekifuba ng’amabeere galingiza era oluvannyuma bakkiriziganya okwagalana.

Agattako nti Nakityo yakwata akatambi nga bali mu kwesanyusa nti era mu kukikola alabika yali agenderera okumukanda ssente ng’amutiisatiisa okukasaasaanya ku mikutu gya yintaneti amuswaze era yatuuka n’okuwaayo obukadde 20 ng’ensonga zigenze ku poliisi, n’alowooza biwedde wabula yeekanze ng’awulidde bittuse buto.

Ayagala kkooti egobe omusango guno era ewalirize Nakityo okusasulira ensimbi zonna z’anaaba asaasaanyizza mu musango. Lobo mufumbo era ye ne mukaziwe babeera Naggulu mu Kampala. Kkooti yaakuwa lwe batandika okuwoza.

Oludda oluwaabi lwalaze nti lwa kwesigama ku bujulizi omuli obw’akatambi, abajulizi ne siteetimenti Lobo gye yakolera ku poliisi ng’akkiriza nga bwe yakabassanya Nakityo era n’akkiriza okuwaayo obukadde 20.

Bagasseeko n’ebbaluwa za balooya ba Lobo ezikoonagana; emu yeegaana enkolagana yonna ne Nakityo era ekimussaako nti yabulawo n’obukadde 5 ez’omulimu ate endala eraga nti yali muganzi wa Lobo.

Nakityo yali akola ku ‘ppampu’ y’amafuta ku Shell okutuusa nga December 8, 2015 lwe yalekulira ebyamutuukako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...