TOP

Bamusanze yesse

Added 13th November 2016

Bamusanze yesse

 Nankanja

Nankanja

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kigombya mu kibuga Mukono bwe basanze munnaabwe nga yeetugidde mu sitoowa. Anna Nankanja (nnamwandu wa Katudde) abadde musawo ng’alina n’edduuka eritunda eddagala ku kyalo kino.

Yasoose kwambala bulungi ne yeesiba ggomesi n’alyoka yeetuga. Okumuzuula kyaddiridde omu ku bawala be okukuba essimu ye okumala ennaku bbiri nga tagikwata n’abaako mukwano gwe gw’akubira agende alabe ekyatuuse ku nnyina wabula n’asanga ng’enju nsibe ng’ekisumuluzo kiri ku ddirisa ebweru.

“Nkutte ekisumuluzo ne nzigulawo ennyumba ne munoonya n’ambula kwe kutegeeza ssentebe eyazze ne tumusanga mu sitoowa ng’ali ku muguwa alengejja,” omutuuze bwe yategeezezza. Ssentebe w’ekyalo kino Ibrahim Kitenda agamba nti omugenzi yasangiddwako ekiwandiiko ekiriko amannya g’ababadde bamubanja, nga kitegeeza nti buli abadde amubanja agende ku ddwaaliro lye bamusasule kuba ebizibu bimutuusizza ku kisenge.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Mukono, Ibrahim Batasi yategeezezza nti omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Kawolo okwekebejjebwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...