TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatawaanyizibwa ekirwadde kya FISITULA babagondezza obulamu

Abatawaanyizibwa ekirwadde kya FISITULA babagondezza obulamu

Added 16th November 2016

Abatawaanyizibwa ekirwadde kya FISITULA babagondezza obulamu

 Akulira ekibiina kya UNNA Atigo eyakulembeddemu enteekateeka eno

Akulira ekibiina kya UNNA Atigo eyakulembeddemu enteekateeka eno

Bya Teddy Nakanjako

ABAKYALA  abatawaanyizibwa obulwadde bw’okutonnya (Fisitula ) okuva mu bitundu by’eggwanga eby’obuvanjuba omuli Busoga  ne Teso  olugendo lwe babadde batinddiga okugenda e Masaka baakufuma lufume oluvannyuma lwa  Bannayuganda  ababeera mu Amerika ne Canada abeegattira mu kibiina kyabwe ekya UNAA okusalawo okuzimba eddwaaliro erijjanjaba obulwadde buno mu kitundu kino.

Kabaka buli mwaka adduukirira abakyala bano ng’Obuganda butegeka emisinde egigenderera okusondera eddwaaliro ly’e Kitovu erijjanjaba obulwadde buno, olwo ababa baweddemu essuubi ate ne baddamu  okucacanca.

Pulezidenti wa UNAA Monday Latigo, agamba nti bali mu kaweefube waakunoonya  doola 250,000 eza Uganda 890,000,000/- (ng’obalidde ku 3,560/-)   okuzimba eddwaaliro erijjanjaba abakyala abalina ekizibu ky’obulwadde buno.

Atigo Pulezidenti wa UNNA mu ssaati eya bbulu (wakati) ng'ali ne banne 

 

“Ku ssente zino twakakungaanyako doola  115,000 eza Uganda 409,400,000/- mu buliwo n’ezisuubiziddwa era nga yiika mukaaga zaaguliddwa e Soroti awagenda okuzimbibwa eddwaaliro lino era tusuubira okufunayo endala okutuukiriza omuwendo gwaffe gwe twetaaga.

Eddwaaliro lino tukwataganye n’ekibiina ekirwanyisa obulwadde buno ekya TERREWODE (Uganda Fistula Fund)  era nkubiriza abakulembeze baffe  Bannayuganda mu masaza ag’enjawulo mu Amerika  okutuusa ebikwata ku kaweefube gwe tuliko mu bantu tusobola okuzimba eddwaaliro lino. Mu ngeri emu oba endala awo tuba tuyambye Bannakazadde b’e ggwanga,” Latigo bw’annyonnyola.

Akakiiko akaalondeddwa okunoonya ssente zino  ezituumiddwa  ‘Buy a Brick’ ekivvunulwa nti G ula ettoffaali kuliko:

Sharon Howe (President of the Uganda Fistula Fund, Seattle, WA)

John Agaba (Seattle, WA) 

. Monday Atigo (Dallas, TX) 

 Angela Bukenya (Spokane, WA)

Dr. Lawrence Musanje (Denver, Colorado)

Eng. John Julius M. Lwebuga (Portland, OR)

Dr. Joseph Buwembo (Saskatchewan, Canada)

. Daphne Mugayo (Maryland) 

 Rogers Muyanja (Boston, MA)

Dr. Daniel Kawuma (Maryland) 

Mr. Damiano Kigoye (LA, California)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...

Abayizi baakukola ebibuuzo ...

EKITONGOLE ky'ebigezo mu ggwanga ekya UNEB, si kyakusazaamu lunaku lwa Mmande enkya olw'abakyala mu nsi yonna okuwummula,...

RDC Kalema ng’ali n’omumyuka w’akulira essomero lya Budde UMEA e Butambala.

Amasomero ga gavumenti gafu...

OMUBAKA wa gavumenti mu Butambala akoze ebikwekweto mu masomero ag'enjawulo okufuuza abatagondera mateeka ga corona...

Abatunda ennyama y’enkoko mu kkiro ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Okusuubula enkoko n'ozonger...

OKUSUUBULA enkoko z'ennyama bw'ozongerako omutindo ofunamu ekisingako ku kye wandifunye. Kino kizingiramu okusuubula...

Ku kkono; Gerald Siranda (DP), Jimmy Akena (UPC), Pulezidenti Museveni ssentebe wa NRM (wakati),Nobert Mao (DP) , Kasule Lumumba (NRM) ne Frank Rusa akulira IPOD.

▶️ Museveni akkirizza okuyi...

PULEZIDENTI Museveni alagidde okuyimbula abamu ku basibe 51 abaakwatibwa ku nsonga z'okugezaako okutabangula emirembe...