TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baze baamulaalise okuttibwa ku Lwomukaaga - Maama Fiina

Baze baamulaalise okuttibwa ku Lwomukaaga - Maama Fiina

Added 28th November 2016

Baze baamulaalise okuttibwa ku Lwomukaaga - Maama Fiina

 Sheikh Muzaata yagenze e Bulenga okukubagiza Maama Fiina.

Sheikh Muzaata yagenze e Bulenga okukubagiza Maama Fiina.

EKIRO ekyasembyeyo nga Maama Fiina ali ne bba Maj. Kiggundu, omugenzi yafunye essimu ng’emulaalika nti, “Enkya ogenda mu ntaana yo; abanaagula essanda nabo bategeeze bazigule mangu!

" Wadde Maj. Mohammad Kiggundu yalabise nga mugumu, Maama Fiina yalabise nga mweraliikirivu kubanga mu wiiki ewedde, waliwo abaabeegezaamu. Sophia Namutebi (Maama Fiina) yagambye nti omulundi ogwasembyeyo wiiki ewedde, baabalondodde ne babatuusa ku ggeeti kyokka Kiggundu n’abatebuka n’akyusa emmotoka mwe yabadde atambulira n’alinnya endala wakati mu kkubo eyamuzzizza eka era abatemu tebaategedde.

Maama Fiina yatambulidde mu mmotoka omwabadde bba ng’ewerekerwako endala egifaanana gye baabadde batumizza, era abaabadde balondoola Kiggundu baawondedde emmotoka ne batuukira ddala ku ggeeti y’amaka ga Maama Fiina e Bulenga; kyokka ne babuzaabuzibwa kubanga baafubye okwetegereza okulaba Kiggundu w’atera okutuula ate nga balabawo mukazi! Oluvannyuma abaabadde balondoola, baakyusizza ne badda e Kampala.

Okwegezebwamu okw’ekika kino babadde bakufuna enfunda nnyingi era ng’olumu bawalirizibwa n’okukyusa amakubo mwe batera okuyita.

Yagambye nti amasimu agabadde gakubirwa bba n’obubaka obumulaalika bubadde bujja enkya n’eggulo era ekiseera kyatuuka ne babumanyiira, wabula ku Lwokutaano bwasusse ne bumweraliikirizza nnyo era n’akabaga k’amazaalibwa ga Maama Fiina ag’emyaka 38, akaabadde kategekeddwa Maj. Kiggundu ku Forest Park e Buloba baakayisizza mu bwangu ng’amasimu abatemu ge bakubira bba gajjira kumukumu. Ku kabaga kano Maama Fiina yakaabye nga yeewuunya engeri bba gy’amulazeemu omukwano kubanga abadde tafunangayo muntu amukolera kabaga k’amazaalibwa.

Sheikh Nuuhu Muzaata Batte yakedde mu maka ga Maama Fiina n’asoma dduwa era n’asaba Maama Fiina okusigala mu Busiraamu wadde bba eyabumuyingizaamu afudde. Maama Fiina yasabye ab’ebyokwerinda okuyigga abasse bba bavunaanibwe.

MAAMA FIINA ASISINKANYE MUSEVENI Eggulo Pulezidenti Museveni yatumizza Maama Fiina n’amusisinkana e Rwakitura. Yamusaasidde ku ttemu eryakoleddwa ku bba n’omukuumi Sgt. Steven Mukasa e Masanafu nga baakava ku luguudo lwa Northern By-Pass era n’amugumya nti bagenda kukola ekisoboka okukwata abasse Kiggundu.

Museveni yasoose kukubira Maama Fiina ssimu ng’obutemu bwakabeerawo ku makya g’Olwomukaaga era n’alagira abaserikale okuggyawo omulambo gwa Kiggundu gwe baabadde balwisizza ku kkubo, mu kifo we baamukubidde amasasi agasukka mu 40 agaamuttiddewo n’omukuumi we.

Sgt. Steven Mukasa waakuziikibwa e Kako – Masaka era mukaziwe Rose Nakintu yagambye nti eggye lya UPDF lye likoze ku nteekateeka z’okuziika era omulambo gusuubirwa okutuusibwa mu booluganda olwaleero nga guggyibwa e Bombo gye gubadde okuva ku Lwomukaaga. Sgt. Mukasa alese bannamwandu abalala n’abaana 14 ate Maj. Kiggundu yalese abaana 11 ne bannamwandu basatu okuli: Maama Fiina, Amirah Kiggundu ne Habibah Kiggundu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...