TOP
  • Home
  • Amawulire
  • MAO akubirizza abantu b'e Buwama okuweerera abaana

MAO akubirizza abantu b'e Buwama okuweerera abaana

Added 1st December 2016

MAO akubirizza abantu b'e Buwama okuweerera abaana

 MAO ne banne nga basala keeci

MAO ne banne nga basala keeci

SSENKAGGALE wa DP Nobert Mao alumbye Gavumenti okugayalirira ebyenjigiriza n'asaba abazadde be Bunjako okuweerera abaana baabwe baleke kwejjusa nga bakaddiye.

Mao mungeri yeemu alumbye n'ababaka bolukiiko lw'eggwanga olw'obutafaayo n'abalangira okwagala emmotoka ez'ebbeeyi n'okusaba omusala omunene ne bava ku bizibu ebiruma bannayuganda.

Bino Mao abyogeredde ku mukolo gw'amatikkira g'eyali Kansala w'egombolola ye Buwama mu lukiiko lwa disitulikiti e Mpigi munna DP Benon Nsamba ogubadde ku ssomero lya Hope Nusery and Primary e Bunjako.

MAO agambye nti yetaaga sikaala mu Uganda martyres yunivasite addeyo asome kubanga Gavumenti kijikakatikako okusomesa abantu mu ggwanga wabula ekifo ky'okubayambako basome ate eggala matendekero.

 
MAO asinzidde ku mukolo guno n'asaba munna DP Walter Lubega Mukaaku amwegatteko aleete ne banne abaayawukana ku DP basobole okutambuza obulungi emirimu mu DP.
 
Mukaaku mukwanukula MAO ategeezezza nga bwali omwetegefu okwegatta ku DP ya Mao basobole okutwala obukulembeze bwa DP mumaaso. Lubega naye mungeri yeemu avumiridde ebikolwa by'okutta abasiraamu MU ggwanga ssaako n'ekibba ttaka ekijjudde mu ggwanga n'asaba Gavumenti okwongeramu amaanyi mu kulwayisa ebintu bino.
 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...