TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obulabirizi bwe Namirembe butegese ennyimba z'amazaalibwa

Obulabirizi bwe Namirembe butegese ennyimba z'amazaalibwa

Added 11th December 2016

Obulabirizi bwe Namirembe butegese ennyimba z'amazaalibwa

 Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira wakati ng'ali wamu ne Maama Nabagereka ku kkono nga bayimba ennyimba z'amazaalibwa

Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira wakati ng'ali wamu ne Maama Nabagereka ku kkono nga bayimba ennyimba z'amazaalibwa

OBULABIRIZI bw’e Namirembe bwategese ennyimba ez’amazaalibwa(Christmas carols) ng’ebimu ku bikujjuko by’okwetegekera olunaku lwa ssekukkulu abakkiriza kwe bajjukirira amazalibwa ga yesu.
 
Ennyimba zino zaabaddewo ku lw’okutaano mu maka g’omulabirizi we Namirembe nga zaatandise ku ssaawa mwenda ez’olweggulo wakati mu buli kwaaya okulaga ekitone kyerina mu kuyimba ennyimba ez’amaloboozi.

Nnabagereka wa Buganda Sylvia Nagginda ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno era mu kwogera kwe yasabye abakkiriza okutunula mwebyo bye bakoze mu mwaka omukadde balabe oba ddala bye bisaanidde mu maaso ga mukama nga bayingira omwaka omupya.
 
Ye omulabirizi w’e Namirembe Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira yasabye abayimbi n’abakulembeze mu bitongole eby’enjawulo obutasosola bakiggala wabula babasembeze kumpi n’ekkanisa nabo bawereze mukama nga bayita mu bintu eby’enjawulo.


Kwaaya ez’enjawulo ezetabye mu nnyimba z’amazalibwa kwaabaddeko Diocesan Choir,Sabaca Choir Bunamwaya,Ambassadors of Christ,St Peter’s Kisaasi.7 O’clock Service Choir Lutikko,Christ Saints Kazo,Jordan Crossers,St Stephen choir Mpererwe,Kibuye church Choir,God Given Choir Kazo,Christ Saints choir Mutundwe nendala nnyingi.

Oluvannyuma lw’ennyimba,Bp Luwalira ne Faith Luwaira baasaze keeki ey’amazalibwa gaabwe agaabaddewo ku lw’okuna n’olwokutaano olwo ne bagabula abaabadde ku mukolo.

Eno bwe yamaze okusalibwa,Nnabagereka ng’ali wamu n’abagenyi ab’ebitiibwa abalala,yasaze keeki gye yagabudde abagenyi ab’enjawulo n’abayimbi abaavudde mu busabadinkoni obw’enjawulo obukola obulabirizi bw’e Namirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...