
Abasaabaze nga balwana okugula lisiiti za bbaasi okudda mu byalo.
EKIRAGIRO ky’okusengula bbaasi ezimu okuva mu paaka ya Qualicell ey’omugagga Drake Lubega ereetedde abasaabaze okubuzaabuzibwa ne babulako entambula gye bakozesa okugenda mu bitundu ebirala.
Kino kyaddiridde akakiiko akavunaanyizibwa ku by’entambula n’okuwa bbaasi layisinsi, aka ‘Transport Licensing Board (TLB)’ okuyisa ekiragiro ekiggya bbaasi ezigenda mu bugwanjuba n’obukiikakkono mu ppaaka ya Qualicell ne balekamu ezidda mu buvanjuba.
Embeera eno ereetedde ppaaka ya Qualicell okusigalamu kkampuni za bbaasi ttaano zokka okuli YY Coaches, Gateway, Kampala Hopper, Teso Coach ne Kakise ng’endala zaalagiddwa okugenda mu paaka ya Namayiba ne Kisenyi Bus Terminal ekireetedde abaasabaze okubutaabutana n’okubulwa mmotoka ezibatwala mu byalo.
Nathan Ssemujju owa YY Coaches yagambye nti ekiragiro kino kikosezza nnyo abali mu mulimu gw’okusaabaza abantu mu kiseera kino, bangi bakonkomalidde mu paaka tebalina mmotoka zibatwala.
Yagambye nti mu paaka ya Qualicell musigaddemu bbaasi 32 zokka so nga mubaddemu ezisoba mu 150.