TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ebyobugagga bya kansala bitabudde bamulekwa ne jjajjaabwe

Ebyobugagga bya kansala bitabudde bamulekwa ne jjajjaabwe

Added 18th December 2016

EBYOBUGAGGA by’eyali kansala w’omuluka gwa Mutundwe ku Munisipaali e Lubaga, Margaret Nabukalu eyafudde wiiki ewedde bitabudde abaana ne jjajjaabwe omukyala.

 Edward Ssekimpi, Elisa Ssegujja ne Lydia Namatovu (ku ddyo). Mu katono ye jjajjaabwe.

Edward Ssekimpi, Elisa Ssegujja ne Lydia Namatovu (ku ddyo). Mu katono ye jjajjaabwe.

EBYOBUGAGGA by’eyali kansala w’omuluka gwa Mutundwe ku Munisipaali e Lubaga, Margaret Nabukalu eyafudde wiiki ewedde bitabudde abaana ne jjajjaabwe omukyala.

Yafudde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde mu ddwaaliro e Lubaga gy’amaze ebbanga ng’ajjanjabibwa omusujja ne puleesa.

Muwala w’omugenzi omukulu Lydia Namatovu agamba, jjajjaabwe Nabuguzi y’ayagala okuddukanya ebintu bya maama waabwe.

Omugenzi yalese emmotoka, amayumba g’abapangisa, amaka n’edduuka e Kitebi.

Alina ekirombe ky’amayinja e Busaabala n’ebirala. Jjajja w’abaana Mutiini Nabuguzi agamba nti, ayagala okubeera mu mmaali ya muwalawe kubanga alaba amalindirizi gagenda kubitwala era ayagala Meeya Ssebuggwaayo abiyingiremu. Abaana bagamba nti, bakuze era ssente bamanyi bulungi maama waabwe bw’abadde azikola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....