TOP

Katonda ebintu bye yawa Uganda ebigifuula ekkula

Added 24th December 2016

Y’ensi erimu ebibala ng’amatooke, ennaanansi, emiyembe ne ovakkedo ebisinga okuwooma mu nsi yonna.

 Olusozi Rwenzori lwe lumu ku zisikiriza abalambuzi. Lwe lusozi lwokka mu Uganda okuli omuzira ku ntikko yaalwo

Olusozi Rwenzori lwe lumu ku zisikiriza abalambuzi. Lwe lusozi lwokka mu Uganda okuli omuzira ku ntikko yaalwo

UGANDA emanyiddwa nga ekkula lya Afrika. Wadde y’emu ku nsi entono mu mawanga ga Africa, naye erina ebintu bingi ebigifuula ey’enjawulo.

 

Uganda erina amazina g’ekinnansi ga mirundi 10 nga gazinibwa amawanga ag’enjawulo. Muno mulimu Muwogola, Baakisimba ne Nankasa ( Baganda), Ekitagururo (Banyankole), Ekizino (Bakiga) Irongo, Nalufuka, Tamenaibuga (Basoga), Mwanga ( Bagisu), Akembe ( Iteso), Runyege ne Entongoro (Batooro), Adungu (Alur), Gaze (Lugbara) ne Bwola (Acholi). Gano gonna gasikiriza abalambuzi.

 

Enjovu nazo ziri mu makuumiro g’ebisolo ag’enjawulo.

 

Y’ensi erimu ebibala ng’amatooke, ennaanansi, emiyembe ne ovakkedo ebisinga okuwooma mu nsi yonna.

Erimu ebika by’ebinyonyi 1061. Erimu amazike agatakyasangikasangika mu nsi endala.

hhaali ke kamu ku bubonero bwa Uganda.

Gano gasangibwa Bwindi National Park. Bannayuganda bantubalamu nnyo era bayaniriza buli muntu.

Emigga n’ennyanja ez’enjawulo musangibwamu goonya.

Erina sizoni z’enkuba za mirundi ebiri mu mwaka, ekiyamba okulima emmere okumalako omwaka gwonna. Erimu ennyanja Nnalubaale esinga obunene mu Afrika.

Amazike g’e Bwindi nago gasikiriza abalambuzi.

Eyitibwamu omugga Kiyira ogusinga obuwanvu mu Afrika. Erina olusozi Rwenzori oluliko omuzira wadde ng’embeera y’obudde mu Uganda ya bbugumu.

Enkula kye kimu ku bisolo ebisangibwa mu makuumiro g’ebisolo ag’enjawulo mu ggwanga.

 

Kuno kw’ogatta ensozi endala, ennyanja n’emigga ne kalonda omulala aleeta abalambuzi okuva mu mawanga ag’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...