TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Tusaba bannaddiini, Katikkiro Mayiga babatabaganye ne Lutaaya - Musa Kavuma

Tusaba bannaddiini, Katikkiro Mayiga babatabaganye ne Lutaaya - Musa Kavuma

Added 29th December 2016

EMPALANA wakati w’abayimbi ba Golden Band ne Geoffrey Lutaaya, basazeewo bagiyingizeemu bannaddiini, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omuduumizi w’amagye Gen. Katumba Wamala be baba babatabaganya.

 Musa Kavuma, maneja wa Golden Band. Ku ddyo, ye Geoffrey Lutaaya

Musa Kavuma, maneja wa Golden Band. Ku ddyo, ye Geoffrey Lutaaya

EMPALANA wakati w’abayimbi ba Golden Band ne Geoffrey Lutaaya, basazeewo bagiyingizeemu bannaddiini, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omuduumizi w’amagye Gen. Katumba Wamala be baba babatabaganya.

Maneja wa Golden Band, Musa Kavuma eggulo yasinzidde mu ofiisi ye e Makindye ku Calender Prestige Hotel n’atutegeeza nti baatudde ne bakkaanya ku kirina okukolebwa okumalawo obunkenke n’obukyayi obwayoleseddwa mu kuziikka taata w’omuyimbi Geoffrey Lutaaya e Mityebiri bwe yabagobye ng’agamba nti balina enkwe era tebalina kalungi ke bamwagaliza.

Kavuma yategeezezza nti, “ffe bulijjo tulowooza nti twafuna butakkaanya ku bya mirimu era ne baawukana buli omu n’akola ebibye.

Naye tubadde tetumanyi nti Lutaaya yasiba obusungu ku mutima n’atuuka n’okutogoba mu kuziika kitaawe...Yiii... n’akuba n’ekimuli ku ssanduuke omuli omulambo gwa kitaawe!

Kino ndaba nga kyasusse.” Kwe kugattako nti, “Tulina ennyiike ku mutima olwa muganda waffe Lutaaya okweyisa atyo. Wano we nsabira abakulu okuli Gen. Katumba Wamala aludde nga mukwano gwaffe ne mwami Gaster Lule Ntakke batutabaganye.

Tusaba era batufunire bannaddiini basatu okuli akulira Abakatoliki, Abakristaayo n’Abasiraamu wamu ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga buli omu ayogere ensonga ze gwe gunaasinga yeetonde tumalewo obunkenke!” Kavuma yagambye nti baagala ensisinkano eno ebeemu n’abaamawulire.

Ku ky’okuddamu okukola bonna, Kavuma yategeezezza nti bbo nga Golden Band tebalina buzibu na kukola na Lutaaya naye essaawa eno si y’ensonga enkulu.

“Buli omu gye yalaga teyejjusa naye bwe wabaawo eyeetaaga munne, kyandibadde kirungi okumweyambisa. Ekikulu kati kwe kumalawo obunkenke obuliwo.

Ku Mmande, kitaawe wa Geoffrey Lutaaya, Muzeeyi Kaboggoza yaziikiddwa e Mityebiri ng’eno Lutaaya owa Da Nu Eagles gye yasinzidde n’agoba aba Golden Band.

Bbandi ya Da Nu Eagles ne Golden Band zaava mu Eagles Productions.

Lutaaya ne mukyala we Irene Namatovu baatandika Da Nu Eagles ate abalala ne basalawo ekyabwe bakituume Golden Band mu March wa 2014.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamatibu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Eby'emmotoka ya Bobi Wine b...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine etayitamu byasi byongedde okuwanvuwa ab'ekitongole ekiwoza omusolo bwe bategeezezza nti,...