TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi Kityo Luwalira asabye abakkiriza okulwanyisa ebikolwa bya Sitaani mu 2017

Omulabirizi Kityo Luwalira asabye abakkiriza okulwanyisa ebikolwa bya Sitaani mu 2017

Added 1st January 2017

Omulabirizi Kityo Luwalira asabye abakkiriza okulwanyisa ebikolwa bya Sitaani mu 2017

 Omulabirizi Kityo Luwalira ng'abuulira e Namirembe mu kusaba okumalako omwaka

Omulabirizi Kityo Luwalira ng'abuulira e Namirembe mu kusaba okumalako omwaka

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira y'abadde omubuulizi omukulu mu kusaba kw'okumalako omwaka okuabadde e Namirembe.
 
Asabye abaweereza mu kkanisa okukomya okuba n'ettima eri bannaabwe ssaako n'eddogo ekintu ekiretedde abasinga okulemwa okulemwa okutuukiriza emirimu gya mukama
 
Bp Luwalira asabye  abakkiriza okumanya obukodyo mwe bayinza okuyita okugobaganya sitaani mu mwaka guno omupya kibayambe n'okusigala nga batukuvu.
 
Okusaba kuno kwatandise ku ssaawa emu ey'olweggulo wakati mu nnyimba ezitendereza omutonzi wamu n'enjiri okuva mu babulizi ab'enjawulo.
 
Ku ssaawa nnya ez'ekiro akulira ekitongole ekibulizi ky'enjiri mu kkanisa ya Uganda Rev Can Capt Titus Baraka yatandise okubuulira kwe nga muno yasabye abantu okukomya okuggwamu essuubi mu bye bakola kibayambe okutandika omwaka omupya nga bamalirivu.
 
Yayongedde n'asaba abakkiriza okukomya enjawukana kibayambe mu mirimu gye bakola kuba kino tekirina gye kibongera mu bulamu bwabwe.
 
Okusaba kuno kwetabiddwako ne pulezidenti wa FDC Dr Kizza Besigye eyatuuse ku ssaawa nnya ez'ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...