
OMUBAKA wa Rubaga South Kato Lubwama ebintu bimutabuseeko, kkooti emugaanye okugenda mu kkooti ejulirwa okulemesa okuwulira omusango gwe ogw’obutasoma.
Kato Lubwama abadde ayagala omulamuzi wa kkooti enkulu Margret Oguli ayimirize ebiragiro bye yayisa n’okuwa olukusa omulonzi we Habib Buwembo okuleeta omusango oguwakanya obuyigirize bwe kyokka omulamuzi n'amugamba nti talina buyinza bujulira na kumusaba okuyimiriza bye yasalawo.
Kati kkooti enkulu yaakugenda mu maaso n’okuwulira omusango guno Kato gw'abadde tayagala guwulirwe nga mu guno, Buwembo alumiriza Kato obutaba na bbaluwa ya P7 ne S4, n’olwekyo teyalina kugenda ku yunivasite e Makerere kusoma bya katemba.
Omulamuzi Oguli era alagidde Kato okusasula Buwembo ssente z'asaasaanyiza mu musango n'amutegeeza nti okusaba okujulira alinga akola akakodyo k’okulemesa kkooti obutanoonyereza ku buyigirize bwe.