TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Aba NRM e Bungereza bawagidde eηηombo ya "Kisanja Hakuna Muchezo''

Aba NRM e Bungereza bawagidde eηηombo ya "Kisanja Hakuna Muchezo''

Added 5th January 2017

ABA NRM e Bungereza mu Hackney ekisangibwa mu buvanjuba bwa London bategse akabaga okujaguza okuyingira omwaka 2017 kwe basinzidde okusemba eηηombo ya “Kisanja Hakuna Muchezo' n’eyokutondawo obugagga’ ebiwomeddwamu omutwe Pulezidenti Museveni.

ABA NRM e Bungereza mu Hackney ekisangibwa mu buvanjuba bwa London bategse akabaga okujaguza okuyingira omwaka 2017 kwe basinzidde okusemba eηηombo ya “Kisanja Hakuna Muchezo''  n’eyokutondawo obugagga’ ebiwomeddwamu omutwe Pulezidenti Museveni.

Drake Wakame eyaakalondebwa ku bwa ssentebe bwa NRM e UK ne Ireland ye yakulidde emikolo gyonna.

Wakame yacamudde abeetabye ku mukolo ‘n’engomba ya ‘no change, no change no change’ bwe yasomye obubaka bwa pulezidenti Museveni obwa ssekukulu n’omwaka omuggya obwabadde buteereddwa ku kipande ekinene okwabadde n’ekifaananyi kya Pulezidenti ne mukyala we Janet Kataha Museveni ng’amuli ku lusegere.

 

Abantu abaabadde bagoberera buli kimu bakkaanyiza kimu nga nkuyege okusemba enkola ya “Kisanja Hakuna Muchezo' n'ey'okutondawo obugagga.

Wakame yategeezezza nti ekifaananyi kya gavumenti ya NRM ku nsonga ezeekuusa ku buli bw’enguzi kigenze kirongooka olw’obukulembeze okulaga obumalirivu okulwanyisa enguzi mu nkola ya “Kisanja Hakuna Muchezo".

Bannakibiina beeyamye okwongera okubunyisa enjiri y’enkola eno okulwanyisa obuli bwenguzi.

Yakkaatiriza omugaso gw’okukolerera enkulaakulana y’eggwanga era n'asaba Bannayuganda ababeera e Bulaaya okusiga n’okunnyikiza mu baana baabwe be bazaalira ebweru omutima  gw’okwagala ensi yaabwe Uganda ey’obuzaaliranwa.

Olukiiko lwetabiddwamu Bannayuganda abaalaze obwetaavu okukolagana ne gavumenti eggwanga lisobole okuganyulwa mu bukugu bwe bafunye e Bulaaya bwe basuubira nti bujja kuba bwa mugaso nnyo eri ensi yabwobwe Uganda.

 

Mu bubaka bwe bwa  Hajji Abbey Walusimbi, ssentebe wa NRM Disapora League bwe yatisse Wakame, yabasabye okutwala byonna ebyabadde mu bubaka bwa Pulezidenti obwa Ssekukulu n’okumalako omwaka nga bya nsonga, n'okwewala enjawukana ezeesigamiziddwa ku mawanga naye beetunuulire nga Bannayuganda ababeera era abakolera e Bulaaya.

Ku nkomerero y’ebikujjuko bammemba bakkaanyizza era ne basalawo ku bino wammanga:

  1. Okuwagira enteekakateeka za Pulezidenti Museveni eza “Kisanja Hakuna Muchezo n’okukola obugagga’ gattako okwetaba mu ttabamiruka agenda okubaawo mu May wa 2017 e London.
  2. Bannayuganda ababeera emitala w’amayanja okwongera okusiga ensimbi mu Uganda.  
  3. Okwongera okukunga, okukuyega n’okuwandiisa bammemba abapya n’abakadde basobole okubeera n’okuza obujja enkalala.
  4. Okutegekanga olukuηηaana buli mwaka olunaayitibwanga ‘Uganda week’ nga luno lwakuyambako bammemba okumanyagana n’okwongera okukolagana.
  5. Okutumbula n’okukola ennyo okutuuka ku biruubirirwa bya Vision 2040.
  6. Okukola ku bintu ebinayamba ekibiina okuwangula akalulu ka 2021.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ambassador Mugoya (ku ddyo) minisita Okello oryem, Dr. Ahmed Ssengendo ne  BIruma Sebulime.

Dr. Ahmed Ssengendo alonded...

Olukungaana olw'ekibiina ekitwala amawanga g'Abasiraamu mu nsi yonna (OIC) olw'omulundi ogwa 47 lutudde mu kibuga...

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...