
ABABAKA ba Palamenti bongedde okukambuwala. Baagala ebikonge bya gavumenti okusesema obuwumbi mukaaga ze beegabanya ku ssente obuwumbi 824 Uganda ze yawangula mu musango gw’amafuta.
Ebiwandiiko ebisomoddwa okuva mu kitongole ky’emisolo ekya URA biraga nti ebikonge bya gavumenti byegabanya obuwumbi mukaaga mu 2015 nga kigambibwa nti Pulezidenti Museveni yazibawa ng’akasiimo olw’okukola ennyo okulaba nti Uganda ewangula omusango gw’amafuta mu kkooti e Bungereza.
Wabula ababaka nga bakulembeddwaamu Peter Ogwang (Usuk) bagambye nti ensonga eno bagenda kujanjula mu lutuula lwa Palamenti, Sipiika Kadaga lwe yayise ku Lwokubiri olujja nga January 10, nga baagala abeegabanya ssente ez’omuwi w’omusolo bazizze.
Abamu ku bantu 54 abagambibwa okwegabanya ssente obuwumbi omukaaga ye;
- Akulira URA, Doris Akol eyafuna obukadde 242
- Eyali akulira URA, Allen Kagina (obukadde 242)
- Eyali Ssaabawolereza wa gavumenti Freddie Ruhindi (obukadde 93)
- Peter Nyombi (obukadde 226)
- Eyali omuwanika w’eggwanika lya gavumenti Chris Kassami (obukadde 93)
- Omuwabuzi omukulu mu by’amateeka Francis Atoke (obukadde 234)
- Dayirekita w’ebyamateeka Christopher Gashirabake, (Obukadde 242)
- Munnamateeka Ali Sekatawa owa URA (Obukadde 242)
- Harriet Lwabi eyali akola ng’omuwabuzi wa gavumenti mu by’amateeka (obukadde 242)
- Jennifer Musisi, eyali akulira ekitongole ky’amateeka mu URA nga kati akulira KCCA (obukadde 121)
- Lawrence Kiiza, owa Minisitule ey’Ebyensimbi (obukadde 102)
- Omubaka Robinah Rwakoojo (obukadde 93)
- Omuwanika w’eggwanika lya gavumenti, Keith Muhakanizi (obukadde 108)
- Eyali omuwandisi ow’enkalakkalira owa Minisitule y’Ebyamasannyalaze Kaliisa Kabagambe (obukadde 133).