TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amooti Omubalanguzi ayiggibwa lwa kukuba ddereeva

Amooti Omubalanguzi ayiggibwa lwa kukuba ddereeva

Added 9th January 2017

Kigambibwa nti ku lwa December 31 omwaka oguwedde, Amooti ne banne baapangisa Ssaalongo Moses Senkima ow’e Kira okubatwalira ebyuma bye baali bagenda okukozesa mu kivvulu kyabwe kye batuuma ‘Akabadi k’Omwaka Laavu Simuchezo’ e Wobulenzi.

POLIISI y’e Wobulenzi eyigga munnakatemba w’ekibiina kya New Amarula, Amooti Omubalanguzi n’abamu ku bakanyama be ku musango gw’okukuba ddereeva gwe baawa omulimu gw’okubatambuliza ebyuma nga December 31, 2016 nga bakubye ekivvulu e Wobulenzi.

Kigambibwa nti ku lwa December 31 omwaka oguwedde, Amooti ne banne baapangisa Ssaalongo Moses Senkima ow’e Kira okubatwalira ebyuma bye baali bagenda okukozesa mu kivvulu kyabwe kye batuuma ‘Akabadi k’Omwaka Laavu Simuchezo’ e Wobulenzi.

Ssaalongo agamba nti ekivvulu bwe kyaggwa ku ssaawa 8:00 ne bamusasula 450,000/- ze baali bateesezza ne batikka ebyuma abikomyewo e Nakulabye we yabiggya.

Wano omu ku bavubuka ba Amooti we yamutegeereza okubaako ebyuma ebirala by’aba aleeta n’abasaba bamwongere ssente ne bagaana naye n’agaana okubiteekako.

Ssenkima agamba nti baba batuuka e Bombo ku Bbiri emmotoka bbiri ne zimwekiika mu maaso ng’emu Amooti mwe yali ne banne.

Yayimirira ne bamusikambula ku siteringi ne batandika okumukuba n’okumusamba ne bamusuula mu mwala ne batandika okumufukira omusulo.

Agamba nti baalaba takyasobola kwerwanako ne bamukwata ne bamuteeka ku mmotoka ye emabega ne balagira ttanibboyi Abud Mwogezi akyuse emmotoka addeyo anone ebintu nga mu maaso batuuzizzaayo abasajja babiri bakanyama naye kye yakola n’abinonayo n’abireeta e Nakulabye n’azzaayo mukama we awaka.

Wabula bwe batuuka awaka ng’embeera ya Ssenkima si nnungi, banne ne bamutwala mu ddwaaliro lya Good Samaitany Clinic e Kireka gyali ku kitanda.

Baddayo ku poliisi e Wobulenzi ne baggulawo omusango gw’okutulugunya omuntu ku fayiro SD:/33/02/01/2017.

Amooti mu ddwaaliro yasindiseeyo omuwi w’amagezi mu kibiina kye amanyiddwa nga Lady Juicy eyategeezezza nti omusajja ono baamupangisa naye eby’okumukuba tebyaliyo wadde nga waliwo obutakkaanya mu kukomyawo ebintu.

Lady Juicy agamba nti wandiba nga waliwo ali emabega w’okwonoona ekibiina kyabwe wamu n’erinnya lya Amooti olw’oluyimba lwe olupya lwe yakubye naye n’ategeeza nti Ssaalongo bw’aba ayagala agende mu kkooti beetegefu okuwoza naye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...