TOP

Muzzanganda asibye mugagga munne lwa ttaka

Added 9th January 2017

Amusibisizza era enkomerero ya wiiki agimaliddeko mu kkomera. Leero lw’azzibwa mu kkooti.

 Muzzanganda ne Tamale

Muzzanganda ne Tamale

BYA AMON NSUBUGA

OMUSUUBUZI Wilson Mukiibi Muzzanganda attunka ne Emmanuel Tamale (TAMUNA) lwa ttaka lya yiika 72.

Amusibisizza era enkomerero ya wiiki agimaliddeko mu kkomera. Leero lw’azzibwa mu kkooti.

Ekitongole kya Flying Squard ku Lwokutaano kyakedde kuzinda maka ga Tamale e Bweyogerere ne bamukwata.

Mu maka ge baggyeeyo emmundu bbiri, ennene ssasirimu ne basitoola era poliisi yazitutte.

Olwavudde wano baamututte butereevu mu kkooti e Nakifuma Mukono gye baamusimbidde mu maaso g’Omulamuzi Sylvia Nvannungi.

Muzzanganda yawawaabidde Tamale ng’amulumiriza okusaalimbira ku ttaka lye ng’aliko abantu be yakulembeddemu ne bakuula obuyinja obulambika ensalosalo zaalyo n’okukuula emiti gya kalittunsi egiwera 1,000.

Amaka ga Tamale e Ntebettebe. Ekitundu ku ttaka erikaayanirwa

 

Mu mpaaba ye Muzzanganda alaga nti ekikolwa kino Tamale yakikola December 23, 2016 n’abalala abatannaba kukwatibwa.

Yabakulemberamu ne bagenda ku ttaka lino erisangibwa e Kateete mu Gombolola y’e Kyampisi e Mukono.

Emisango Tamale yagyegaanyi n’asaba Omulamuzi amukkirize bamweyimirire adde eka ng’agamba nti mulwadde tasobola mbeera ya kkomera.

Ng’ayita mu Munnamateeka we Cyrus Kahinda yategeezezza Omulamuzi nti mutuuze w’e Kateete omumanyifi tasobola kudduka wadde okulemerera okugondera ebiragiro bya kkooti.

Okusaba kwe Omulamuzi yakugaanyi ng’agamba nti ebbaluwa ezikakasa nti mulwadde tezaabadde nnambulukufu era ne w’asula watankanibwa kubanga yategeezezza nti w’e Kateete – Kabembe so nga mu kumukwata baamuggye mu maka ge e Bweyogerere – Ntebettebe.

Amaka ga Tamale e Ntebettebe.

 

Bwatyo Omulamuzi yasindise Tamale ku limandi asuleyo Olwomukaaga ne Ssande. Omu ku booluganda lwa Tamale eyagaanyi okwatuukiriza amannya yakkirizza nga muzeeyi bwe yasangiddwa n’emmundu zino kyokka n’ategeeza nti ziri mu mateeka ng’emu amaze nayo emyaka egisoba mu 50.

Bukedde bwe yatuukiridde Tamale, yagaanyi okwogera ng’agamba nti tayogera na baamawulire.

Muzzanganda musuubuzi mu Kampala ng’alinamu n’ebizimbe. Ye nnannyini Muzza Hotel e Mukono, alina amaka mu bitundu eby’enjawulo.

Ali ku Lukiiko lwa Buganda Twezimbe. Yategeezezza nti ettaka eririko enkalu yaligula ku bantu ba famire ya Tamale.

Tamale yawaaba mu kkooti nga beevunaana nga bo abooluganda bokka ne bokka.

Omusango gwatuuka mu kkooti e Jinja Omusango Tamale ne gumusinga nga bagamba nti ettaka yalifina mu lukujjukujju ekyapa kye yalina ne kisazibwamu. Yali asirise naye kati yazzeemu okulikaayanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasomesa nga baweebwa ebigezo by'amasomero gaabwe.

Enkuba teremesezza bigezo k...

Wadde ng'enkuba yakedde kutonnya mu bitundu by'omu disitulikiti y'e Kalungu teyalemesezza bakulu b'amasomero kunona...

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...