TOP

Bawannyondo bagobye abakadde mu nnyumba

Added 11th January 2017

ABAKADDE bawannyondo ba kkooti be baasuulidde ebintu ebweru balaajanidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura okubayamba okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza omugagga obutabasengula.

  Paul ne Joyce Ssemanda.

Paul ne Joyce Ssemanda.

ABAKADDE bawannyondo ba kkooti be baasuulidde ebintu ebweru balaajanidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura okubayamba okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti ekiyimiriza omugagga obutabasengula.

Paul Ssemanda, 90 ne mukyala we Joyce Ssemanda (75) abatuuze b’e Nansana mu West II Zooni be baagala Gen Kayihura abayambe okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti ekyabaweereddwa nga bagamba nti akulira poliisi y’e Wakiso, Justus Tasobya yagaanyi okubayamba.

Nga December 12, 2016 bawannyondo ba kkooti nga bakulirwa Godfrey Kintu baawambyeeko Ssemanda ekizimbe kye n’oluvannyuma ne bamukasuka wabweru nga bakolera ku kiragiro kya kkooti ekyateekebwako omukono gw’omuwandiisi wa Kkooti Enkulu Samuel Twakyire oluvannyuma lw’okusalwa kw’omusango gw’engassi Jane Kabonge ne Nansana Town Council gwe baaloopa Ssemanda.

Ssemanda agamba nti nga December 15, 2016 we yafunidde ekiragiro kya kkooti ekiziyiza omugagga okutasengulwa, bawannyondo ba kkooti baabadde tebannawandiikira kkooti mu butongole kugitegeeza nti ekiragiro kya kkooti ekyasooka kiteekeddwa mu nkola.

Edward Makanga, mutabani wa Paul Ssemanda yategeezezza nti ekizimbe kya kitaawe ekisangibwa e Nansana ku luguudo lw’e Hoima nga kibalirirwamu obukadde 300, bawannyondo ba kkooti baakozesa obukuluppya ne bakiranga mu mawulire nga balaga nti kisangibwa mu Canan Estate era nga kibalirirwamu obukadde 13 kyokka ne bakiguza abagagga Micheal Tugyetwena ne Elizabeth Tugyetwena ku 6,500,000/- zokka ekintu ekitakkirizika.

Ssemanda annyonnyola nti Bawannyondo ba kkooti tebaagoberera mateeka nga bamukasuka wabweru okuva mu nju ye ekyawaliriza batuuze banne okwegugunga ne babambula ebibaati ebyali bikubiddwa ku kizimbe kye era nga mu nkola egoberera amateeka kyali kikakata ku Tashobya okukiyimiriza.

Yayongeddeko ng’ebintu bya kitaawe bawannyondo bye baakasuka wabweru ebimu byabbibwa ate nga n’ebyasigalawo byonoonekera wabweru olwobutaba na nju we babikuumira.

Bukedde bwe yatuukiridde Tashobya ku ssimu yategeezezza nti ekiragiro kya kkooti, Ssemanda kyalina kifu kuba we yakifunira nga bamaze okumukasuka wabweru ate nga kyo kiziyiza bawannyondo ba kkooti kumukasuka wabweru okuva mu kizimbe kye. N’agamba nti bye yakola byonna yagoberera mateeka nga bwe galagira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....