TOP
  • Home
  • Agawano
  • Pulezidenti wa Gambia omuggya agenda kulayirira Senegal

Pulezidenti wa Gambia omuggya agenda kulayirira Senegal

Added 19th January 2017

Pulezidenti wa Gambia omuggya, Adama Barrow ategeezezza nti emikolo gy'okumulayiza nga Pulezidenti w'eggwanga eryo omulonde gigenda kuyindira Senegal ku kitebe kya Gambia leero ku Lwokuna.

  Adama Barrow, Pulezidenti omulonde alinze okulayizibwa ne Yahya Jammeh, eyagaanye okuwaayo entebe y'Obwapulezidenti

Adama Barrow, Pulezidenti omulonde alinze okulayizibwa ne Yahya Jammeh, eyagaanye okuwaayo entebe y'Obwapulezidenti

Pulezidenti wa Gambia omuggya, Adama Barrow ategeezezza nti emikolo gy'okumulayiza nga Pulezidenti w'eggwanga eryo omulonde gigenda kuyindira Senegal ku kitebe kya Gambia leero ku Lwokuna.

Adama bino abyogeredde mu bubaka bw'ayisizza ku mikutu gya yintaneeti okuli Facebook ne Twitter mw'agambidde nti ayise abantu ab'enjawulo okwetaba ku mukolo guno.

Kino kiddiridde Gambia Yahya Jammeh, eyawanguddwa mu kalulu yeeyongezzaayo emyezi esatu emirala ku kisanja kye ekiweddeko olwaleero nga January 19, 2017 n’alangirira ebiseera ebyakazigizigi.

Jammeh 51, nga yaakafugira Gambia emyaka 22, yawanguddwa eyali nkubakyeyo Adama Barrow 51, mu kalulu ka December 1, 2016 kyonna n’agaana okuwaayo obuyinza ng’agamba obululu bwe bwabbiddwa.

Pulezidenti omulonde, Barrow, yaddukidde mu Senegal gy’asinziira okuwera nti olwaleero ku Lwokuna nga January 19, lw'agenda okulayizibwa.

Palamenti ya Gambia yatudde eggulo ababaka ne bayisa ekiteeso nga bakkiriziganya n’ekyasaliddwaawo Yahya okwongerayo ekisanja kye emyezi esatu.

Ebiseera ebyakazigizigi kitegeeza nti amateeka g’amagye ge gagenda okulamula eri omuntu yenna agezaako okutabangula emirembe.

BAMINISITA ABALALA BALEKULIDDE

Baminisita ba Yahya abalala bana balekulidde nga kati omuwendo gutuuse mu musanvu.

N'omumyuka wa Pulezidenti, Isatou Njie-Saidy naye alekulidde.

Amawanga ag’omukago gwa ECOWAS omwegattira agali mu bugwanjuba bwa Afrika gateekateeka okweyambisa eryanyi ly’emmundu okuggya Yahya mu ntebe bagikwase Barrow.

Omukago gwa Afrika ogwa AU gwategeezezza nti okutandika n’olwaleero, Barrow gwe babala nga Pulezidenti wa Gambia.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...