TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abakaayanira ettaka ly'e Butabika Gavt egenda kubasengulira Kiboga

Abakaayanira ettaka ly'e Butabika Gavt egenda kubasengulira Kiboga

Added 23rd January 2017

MINISITA w’ettaka n’amayumba Betty Amongi agambye nti Baveterani abakaayanira ettaka ly’e Butabika bagenda kubasengulira Kiboga.

 Ettaka ly'e Bukasa, Gavumenti ly'egenda okusazaamu ebyapa.

Ettaka ly'e Bukasa, Gavumenti ly'egenda okusazaamu ebyapa.

MINISITA w’ettaka n’amayumba Betty Amongi agambye nti Baveterani abakaayanira ettaka ly’e Butabika bagenda kubasengulira Kiboga.

Okusinziira ku New Vision, minista bino yabitegeezezza abaamawulire n’agamba nti bafunye yiika 200 kwe bagenda okusengulira abantu bano.

Amongi agamba nti kino kigenda kukola kw’abo bokka ababeera e Bukasa mu kiseera kino kubanga bakizudde nga waliwo abagagga abaali bafunyeyo ebyapa mu bukyamu basobole okuliyirirwa.

“Nga gavumenti tumaze okusunsula abantu sekinnoomu n’amakampuni tukkaanye nabo ng’abantu tulyoke tubasengule“ Amongi bwe yaggumizza.

Wiiki ewedde yasinzidde ku Media Centra mu Kampala n’ategeeza nti ekiseera kino bamaze okusazaamu ebyapa 20 at’ebiralala 23 birindiridde kusazibwamu essaawa yonna. Yagambye nti ettaka eriri ku byalo okuli Butabika, Kolo, Senyi ne Wankolokolo byatalizibwa ng’ettaka ly’ebibira mu 1948.

Yannyonnyodde nti kyakakasibwa mu ssemateeka wa  1962 mu ssuula 246. Ettaka lino likuumibwa ekitongole ky’ebibira ekya National Forestry Authority (NFA) ku lwa Bannayuganda bonna.

Agamba nti mu ssemateeka wa Uganda ennyingo 237(2)(b)  erambika gavumenti ne gavumenti z’ebitundu okukuuma entobazi, emigga, ennyanja, amakuumiro g’ebisolo okutumbula eby’obulambuzi ku lwa Bannayuganda.

Etteeka ly’ettaka 59(1)(a) liragira akakiiko k’ebyettaka ku disitulikiti okugaba ettaka eryo lyokka eritaliiko muntu oba ekitongole ekirivunaanyizibwako. Ekiseera kino omuntu avaayo n’agamba nti akakiiko kaamuwa ettaka lino abeera yafuna mpewo.

Amongi agamba nti ekitundu kino omuli ebyapa ebyasaziddwamu kyekibadde kikandaalirirzza omulimu gw’okutandika okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Kampala okugenda e Malaba (Malaba-Kampala Standard Gauge Railway), Kampala-Jinja express Highway, okuzimba omwalo e Bukasa ne layiniy’amasannyalaze agamaanyi eva e Namnve okugenda e Luzira.

Yannyonnyodde nti ekyennyamiza kwekulaba ng’abantu abaafuna ettaka lino mu bukyamu ate bwe batuuse okuvaawo basaba obulindo n’obulindo bw’ensimbi nga baagala okuliyirirwa. 

Amongi agamba nti okusinziira ku nnyingo 91essuula 227 mu tteeka ly’ettaka, liwa omuwandiisi w’ebyapa obuyinza okusazaamu ebyapa byonna ebyafunibwa mu ngeri emenya amateeka nga bwe kyali mu bitundu ebimenyeddwa waggulu.

Abo bonna abava mu bitundu bino nga babadde baateekayo okusaba kwabwe mu kakiiko k’ebyettaka e Wakiso okufuna ebyapa, biyimiriziddwa mbagirawo era satifikeeti ezaabaweebwa nga balinda ebyapa zisazibwemu.

Yeebazizza Bannayuganda abeekubye mu kifuba ne bazzaayo ebyapa bye baafuna mu bifo bino bisazibwemu nga tebakakiddwa era yakubirizza abakyesisiggirizza okulabira ku bannabwe.   

OLUKALALA LW’EBYAPA EBIRINDIRIDDE OKUSAZIBWAMU: 

1.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK1602 FOLIO 14

PLOT 1241 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

2.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK1602 FOLIO 13

PLOT 1242 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

3.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK614 FOLIO 1

PLOT 722 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

4.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK573 FOLIO 4

PLOT 721 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

5.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK862 FOLIO 18

PLOT 21 KIBULWAMWANA ROAD, ENTEBBE

6.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK868 FOLIO 18

PLOT 697, 698, 699, 700 AND 701 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

7.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK572 FOLIO 5

PLOT 713, 714 AND 715 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

8.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK1154 FOLIO 23

PLOT 1230 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

9.      FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK2294 FOLIO 6

PLOT 1316 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

10.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK87 FOLIO 25

PLOT 717 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

11.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK450 FOLIO 7

PLOT 1067 AND 1068 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT KIRINYA

12.  FREEHOLD REGISTER VOLUME 942 FOLIO 25

PLOT 635 AND 636 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

13.  FREEHOLD REGISTER VOLUME 942 FOLIO 24

PLOT 634 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

14.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK566 FOLIO 3

PLOTS 709 AND 710 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

15.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK87 FOLIO 25

PLOT 717 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

16.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK1518 FOLIO 24

PLOT 691 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

17.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK1518 FOLIO 25

PLOT 692 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

18.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK2243 FOLIO 4

PLOT 1308 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

19.  FREEHOLD REGISTER VOLUME WAK827 FOLIO 13

PLOTS 689 AND 690 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA

20.  LEASEHOLD REGISTER VOLUME 4199 FOLIO 17

PLOT 676 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA - KIRINYA

21.  LEASEHOLD REGISTER VOLUME 4199 FOLIO 18

PLOT 674 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA – KIRINYA

22.  LEASEHOLD REGISTER VOLUME 4199 FOLIO 19

PLOT 675 KYADONDO BLOCK 242 LAND AT BUKASA – KIRINYA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...