TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ensonga lwaki omulamuzi Luswata avudde mu musango gwa Mumbere

Ensonga lwaki omulamuzi Luswata avudde mu musango gwa Mumbere

Added 27th January 2017

OMULAMUZI Eva Luswata abadde awulira emisango egivunaanibwa Omusinga wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere agivuddemu ne gikwasibwa omulala.

 Mumbere (mu ssuuti) ng’atuuka ku kkooti e Jinja gye buvuddeko.

Mumbere (mu ssuuti) ng’atuuka ku kkooti e Jinja gye buvuddeko.

OMULAMUZI Eva Luswata abadde awulira emisango egivunaanibwa Omusinga wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere agivuddemu ne gikwasibwa omulala.

Bukedde akitegeddeko nti omusango guno bwe gunaaba guzzeemu okuwulirwa, omulamuzi wa kkooti enkulu e Jinja Michael Eludu y’agenda okugutuulamu.

Omulamuzi Luswata ye yakkirizza Mumbere okweyimirirwa nga January 13, 2017 ku kakalu ka kkooti ka bukadde 100 ezitali za buliwo. Kyokka oluvannyuma abaserikale baamukwatidde ebweru wa kkooti nga yaakayimbulwa.

Kino omulamuzi alaba ng’ekyabadde eky’okuyisa amaaso mu kkooti. Ezimu ku nsonga bannamateeka ba Mumbere ze bawa okusobola omuntu waabwe okweyimirirwa mulimu okubeera nga mulwadde wa sukaali n’okuba nti akuliridde.

Ensonda zaategeezezza nti waliwo olukiiko olw’ekyama olwatudde ku Lwokubiri nga lwetabiddwaamu abalamuzi Luswata, Eludu n’omuwandiisi wa kkooti enkulu, Jesse Byaruhanga ne bakkiriziganya nti omusango guwulirwe Eludu.

Kyategeezeddwa nti Luswata yagaanye okuddamu okuwulira omusango guno kuba ku mulundi ogwasooka ebitongole bya gavumenti byanyomoola ebiragiro bye.

Yategeezezza nti tasobola kugumiikiriza kujoogebwa. Obumu ku bukwakkulizo obwaweebwa Mumbere kwaliko obutalinnya kigere mu disitulikiti ye Kasese, Bundibugyo ne Kabalore.

Yalagibwa okutambulira mu Kampala, Wakiso ne Jinja nga bw’abeera mu maka ge agali e Muyenga.

Mu kiseera kino tekimanyiddwa ddi kkooti lw’eddamu okuwulira okusaba kwe okweyimirirwa, kyokka nga Mumbere alina okudda mu kkooti nga January 30, 2017 okutandika okusomerwa emisango egyamuggulwako oluvannyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...