TOP

DP efuumudde Kezaala ku bwassentebe

Added 30th January 2017

ABAKULEMBEZE ba DP ku lukiiko olufuzi (NEC) bayimirizza Ssentebe Mohammed Baswale Kezaala eyalondeddwa ku bwa Ambasada ne bamugaana okuddamu okukola omulimu gwonna ku lw’ekibiina.

 Kezaala (ku ddyo) n’abamu ku bakulembeze ba DP mu lukiiko ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Kezaala (ku ddyo) n’abamu ku bakulembeze ba DP mu lukiiko ku Lwokuna lwa wiiki eno.

Bakakasizza omumyuka we, Dr. Mayambala Kiwanuka okutuula mu ntebe ye okutuusa nga ttabamiruka atudde n’alonderamu omuntu omulala.

Balagidde Kezaala asseemu ebbaluwa eraga nti alekulidde ekifo ekyo era ebiwandiiko by’ekibiina byonna by’abadde atereka n’okukozesa abizze ku kitebe.

Ensonda mu DP zaategeezezza nti kino kyaddiridde Kezaala okulaga nti takirabamu mutawaana okutwala ekifo kya Ambasada kubanga mulimu gwa Gavumenti ogusobola okukolebwa omuntu ow’ekibiina ky’ebyobufuzi ekirala kyonna.

Kino kyawakanyiziddwa abakulu mu kibiina nga bagamba nti engeri gye yalondeddwa Pulezidenti Museveni nga tebategeezeddwaako, kitegeeza nti waliwo ebigendererwa eby’ebyobufuzi ebikiri emabega.

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao eyabadde n’abamu ku bakulembeze ku NEC baayawukanye ne Kezaala nga bamulagidde awandiike ebbaluwa erekulira baleme kulabika ng’abamusindiikiriza.

Kyasaliddwaawo Mao afulumye ekiwandiiko ku nsonga za Kezaala enkya ku Lwokubiri.

Akola nga Ssaabawandiisi wa DP, Gerald Siranda yategeezezza Bukedde nti wadde ekifo ekyo kiragibwa ng’ekyomukozi wa Gavumenti, naye embeera y’ebyobufuzi eriwo abakikolamu olw’okuba balondebwa Museveni, bakozesebwa mirimu gimukuumira mu buyinza n’okutuukiriza manifesto ya NRM.

Bino we bijjidde nga munnamateeka era Pulezidenti w’ekibiina kya JEEMA, Asuman Basaalirwa alaalise okutwala Gavumenti mu kkooti ng’agivunaana okulonda Kyabazinga Gabula Nadiope IV ku bwa Ambasada ow’enjawulo mu ofiisi ya Pulezidenti ky’agamba nti kikontana ne Ssemateeka akugira abakulembeze ab’ennono okubeera mu kifo eky’enzirukanya ya gavumenti n’eky’ebibiina by’ebyobufuzi.

Wabula ate Katikkiro wa Busoga yasinzidde mu lukiiko lwabwe olwatudde ku Lwomukaaga, n’annyonnyola nti ekifo ekyaweereddwa Gabula kya njawulo era kiringa kya nnakyewa era emirimu Gabula gy’anaakikolerangamu gyakuvanga wa Pulezidenti butereevu era nga gw’annyonnyola ebigivuddemu.

Yawunzise agamba nti baakwebuuza ku bataka, abaamasaza 11 n’abantu abakulu mu Busoga basalewo ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...