TOP

Balooya ba Mumbere bayombedde mu kkooti

Added 31st January 2017

BALOOYA b’Omusinga wa Rwenzururu, Charles Wesley Mumbere nga be bawolereza n’abantu abalala 169 b’avunaanibwa nabo bayombedde mu kkooti e Jinja.

 Mumbere ng'atwalibwa mu kkooti. EKIF: JACKIE NAMBOGGA

Mumbere ng'atwalibwa mu kkooti. EKIF: JACKIE NAMBOGGA

BYA JACKIE NAMBOGGA

Nga bakulembeddwa Caleb Alaka bawakanyizza engeri Gavumenti gyeruddewo okunoonyereza ku misango egivunaanibwa abantu baabwe ne bagamba nti wandibaawo akazannyo ke babazannya.

Mumbere ne banne 169, baalabiseeko mu maaso g’omulamuzi akulira kkooti ento, John Francis Kaggwa ne basomerwa emisango egya nnaggomola egibavunaanibwa.

Wabula akulira abawaabi ba Gavumenti e Jinja Grace Nabaggala yategeezezza nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso n’asaba babongere ekiseera ng’abasibe kwe bakuumirwa ku limanda. Kino kyaggye Alaka mu mbeera n’atabuka!

Yasabye omulamuzi asseewo ekiseera okunoonyereza bwe kulina okuba nga kuwedde.

Alaka yasabye omulamuzi okuweereza samanizi ezikwata akulira ekitongole ky’amakomera Dr. Johnson Byabashaija olw’okuziimuula ekiragiro kya kkooti enfunda bbiri.

Yategegeezezza nga Byabashaija bwe yagaana okusengula abasibe abakuze mu myaka nga balwadde okuva e Kirinnya okubatwala e Luzira okumpi n’amalwaliro we basobola okufuna obujjanjabi.

Mu bano mulimi ne Katikkiro wa Rwenzururu Johnson Thembo Kitsumbire.

Abalala kuliko n’omutabufu w’obwongo ng’ono aba beetaaga okutwala e Butabika.

Evans Ocheng looya w’abawawaabirwa yategeezezza nga bwe waliyo abantu bataano abaatulugunyizibwa nga bano babadde bajjanjabirwa mu ddwaaliro lya UPDF e Bombo nga gwe mulundi gwabwe ogusoose okulabika mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...