TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Akutte mukazi we n'omusiguze nga basinda omukwano n'asoberwa

Akutte mukazi we n'omusiguze nga basinda omukwano n'asoberwa

Added 31st January 2017

SSEMAKA Jamadah Sennyonga yalondodde mukazi we amukwatire mu bwenzi.

 Naggayi eyakwatiddwa mu bwenzi ne Mukoozi. Sennyonga ng’ayomba ku poliisi. Ku kkono ye Naggayi nga yeekweka kkamera. Muhoozi nga yeewagaanya wakati w’oluggi n’omutayimbwa oluvannyuma lw’okumukwata ne muk’omusajja

Naggayi eyakwatiddwa mu bwenzi ne Mukoozi. Sennyonga ng’ayomba ku poliisi. Ku kkono ye Naggayi nga yeekweka kkamera. Muhoozi nga yeewagaanya wakati w’oluggi n’omutayimbwa oluvannyuma lw’okumukwata ne muk’omusajja

Olwatuuse ku nnyumba mwe yabadde n’awulira ng’ekiri munda kika kyokka ng’eddoboozi awulirira ddala lya mukazi we ne gamwesiba.

Yasonze n’ago mu buto n’akonkona ku luggi nga bw’ayita erinnya lya mukazi we Zamu Naggayi. Yabadde akyakonkona essajja, ne libandulawo oluggi ne limubuuza ky’alyagaza.

Olwo n’akendeeza eddoboozi nga bw’alabiriza oba waliwo ayinza okumutaasa.

Yagenze okwetegereza ekiwago nga ly’essajja li Abdul Muhoozi eryakamukuba emirundi ebiri.

Wano n’eddoboozi yalisazeeko n’adda emabega n’ayita abapoliisi abaabadde okumpi.

Baagenze okuwulira ng’avuumirira nti; ‘abange mujje, essajja eryankuba olubale n’era ndikutte ne Zamu.’ Sennyonga omutuuze mu Kiteezi mu Wakiso ye nnannyini mukazi Zamu Naggayi gw’alinamu abaana bana.

Yamukutte ne Muhoozi, ddereeva wa takisi e Mpereerwe nga naye abeera Kiteezi.

Ebigambo byamuweddeko bwe yabadde yeekalakaasa Muhoozi n’amutegeeza nti, “Naggayi si mwana muto” era si y’amunona ewuwe.

Sennyonga olwatuuse ku poliisi e Ttula gye yaggudde omusango ku fayiro SD:Ref:15/25/11/2016 n’atandika okutegeeza abaserikale obujoozi bwa Muhoozi nga bwe yamutuula mu kifuba.

Teyakomye okwo n’amuyisaamu empi n’agakonde omulundi ogutali gumu! Bw’alabye asusse okumuwuttula kwe kuyita poliisi waakiri ensonga ziggweere mu mateeka.

“Bannage omusajja oyo mujoozi. Nabakwata lubona mu Pinto Guest House e Mpereerwe mu Kiyanja Zooni gye buvuddeko. Abamu ku bakozi mu loogi bantaayiza omukazi ne bamutolosa. Bwe nasalawo tumeggane ne Muhoozi yankuba.

Nali mufunzizza n’ankuba ettoffaali ku mutwe n’adduka,” Sennyonga bwe yannyonnyodde. Ayongera okunyumya ng’abaliwo bamwegese amaaso olwo nga Muhoozi ali mu kaduukulu.

“Bannange omusajja teyakoma awo, olulala waliwo eyampadde amawulire nga bali mu kifo ekisanyukirwamu ne hhendayo era n’ankuba ensonga ne nzireeta ku poliisi ku fayiro SD:17/23/01- /2017.

Poliisi olwagenze okumukwata baamunoonyezza n’abula. Ku Ssande nabadde nvuga pikipiki yange emisana ttuku ne ndaba maama w’abaana mu maka we nnabadde simusuubira ng’ate yabadde tantegeezezzaako nti alina gy’alaga.

Neetooloddemu kyokka omutima nga guhhamba nti gwe ndabye ye Zamu.” Bwe yategeezezza.

Yatambudde mpola okutuuka ku nnyumba era kye yawulidde munda kya mukubye wala, ng’eddoboozi ly’omukazi ly’awulira lye lya mukazi we kubanga n’ebisoko by’akozesa abimanyi bulungi.

Yagambye nti yabadde alowooza nti mukazi we y’anaafubutuka okudduka kyokka Muhoozi ye yavuddeyo nga yenna atuuyanye. Poliisi yakutte Muhoozi ne Naggayi ne babaggalira.

Muhoozi yawadde Sennyonga amagezi ayongere okwetegereza azuule ensonga lwaki mukazi we alabankana. Naggayi naye ng’ali ku poliisi yakalidde mu bba n’amutegeeza nti tamwanjulanga, talaba nsonga lwaki amutambulirako.

Yagenze okulaba ng’esonga zirinnye enkadaggo bamuzzaayo mu kaduukulu ne yeetondera taata w’abaana amusonyiwe badde eka ajja kukyusa, akomye okumugattika, kyokka ne babaggalira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.