
Muky. Ssebuggwaawo ng’agenze okusaasira ku Meddie Nsereko.
Ekizibu ekibaluseewo ku Nsereko, kya puleesa kulinnya n’atandika n’okuweekeera nga bw’ayogera n’ebitakwatagana ate mu budde bwe bumu n’ekka nnyo nga nakyo kibi.
Mwanyina wa Nsereko, Sarah Busuulwa yategeezezza Bukedde nti abasawo baamuggyeko omusaayi okukola ‘tesiti’ ya ‘Eko’ ne ‘Electral Cadiogram’ nga zonna zikwatagana na mutima okuzuula puleesa erinnya mu ngeri etali ya bulijjo kw’eva.
Kyokka Busuulwa yasabye ababika Nsereko bamuleke kubanga mulamu bulungi n’alabula nti nakyo kiyinza okuba nga kye kimuviirako embeera okutabuka.
Nsereko yagudde ku kabenje bwe yabadde ataasa owa bodaboda, emmotoka n’emulemerera n’etomera omuti gw’ekitaala siteringi n’emukuba ekifuba.
Ekyasinze okukola obubi, bwe butavaamu musaayi ekyamuleetedde okufuna obulumi obw’amaanyi n’okutiisa abasawo e Kibuli abaakoze kyonna okulaba ng’omusaayi gusaabulukuka guleke kwekwata bitole.
Akabenje yakafunye mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano e Kibuli okuliraana omuzikiti.
Olw’embeeraye okutabuka, essaawa eno bassenga, abaana ne mukyalawe Sarah Mirembe bakola ku bya kumukyusiza ddwaliro olw’embeeraye atabuka buli kaseera.
Sarah Mirembe agamba nti omulwadde akyetaaga obujjanjabi obusingawo okusobola okuzuula ekituufu ku mbeera y’obulamu bwe.
Abagenyi abamukyalidde kuliko Minisita wa Kampala, Beti Kamya Meeya wa Lubaga, Joyce Nabbosa Ssebugwawo Loodi meeya Elias Lukwago Minisita omubeezi ow’ebyenguudo, Katumba Wamala abataasobodde kumulambulako baasindise ababaka era Katumba yakubidde famire ya Nsereko essimu ng’abasaasira wamu n’okusaba batwale omulwadde akeberebwe buli kintu kyonna ekyetaagisa okuzuula ekituufu ku mbeera y’obulamu bwe awatali kweraliikirira kintu kyonna.
Abalala kuliko Ibrahim Kasozi owe Makindye, Bety Nambooze n’abasuubuzi abatutumufu okwabadde Maria Nakaweesi nnanyini kkampuni ya Marias’ , Sheikh Mutyaba Abdu Salam, Imam wa Kibuli, Makolo KavumaLubega Kaddunabbi Ibrahim, Kamoga Mohammad n’abalala.