TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omuyimbi Kusaasira asimattuse abatemu b'amajambiya: Abawadde akasawo ka ssente okutaasa obulamu

Omuyimbi Kusaasira asimattuse abatemu b'amajambiya: Abawadde akasawo ka ssente okutaasa obulamu

Added 6th February 2017

OMUYIMBI Catherine Kusasira ‘nnannyini bbina’ awonye ababbi abaabadde n’amajambiya ne bamusaba ssente.

 Kusasira ku mmotoka ye mwe baamubbidde.

Kusasira ku mmotoka ye mwe baamubbidde.

OMUYIMBI Catherine Kusasira ‘nnannyini bbina’ awonye ababbi abaabadde n’amajambiya ne bamusaba ssente.

Yabadde akyesisiggiriza ne bakuba mmotoka ye ey’ekika kya Toyota Prado ne baasa endabirwamu, kwe kubawa ensawo ya ssente ne babulawo.

Kusasira yabadde ava okukola mu kivvulu e Katende ku lw’e Masaka ku kifo ekimanyiddwa nga Ntwatwa Gardens ne bbandi ya Golden mu kiro ekyakeesezza Ssande.

Agamba nti ye yabadde ku mulyango ng’asolooza kubanga ekivvulu kyabadde kikye.

Endabirwamu ezaayiise mu mmotoka ya Kusasira munda.

Yabadde yaakatuuka e Makindye ku Nsambu Road okuliraana bbaala ya AY, mu Kampala ku ssaawa 8:30 ng’alina mukwano gwe, Amina gw’aggya mu mmotoka ye yeeyongereyo.

Mu budde obwo, ababbi b’agamba nti balabika baabadde baamugoberedde kuva wala olwa pikipiki ya bodaboda obwedda gy’alaba kyokka ng’alowooza nti eri ku byayo, bwe yasibye mmotoka okuggyamu mukwano gwe, yeekanze abaabadde ku bodaboda nga babuuseeko n’amajambiya agatemagana ne bagamusongamu ne bamulagira okubawa ssente.

Waayise obutikitiki butono ne batandika okukoona endabirwamu z’emmotoka ye n’ebijambiya naye kye yakoze kwe kudda emabaga atomere eyabadde emabega wabula ne yeewoma.

Bwe yazze mu maaso n’amaanyi n’asalawo atomere ggeeti y’omutuuze asula ku kkubo n’egaana okumenyeka ayingire bamutaase n’agenda ku ndala era n’egaana.

Amina, eyabadde ne Kusasira ng’alaga ggeeti gye baatomedde.

 

Wano we yasaliddewo okubakasukira ensawo ya ssente ng’alaba kisusse eky’okukubaakuba mmotoka n’okugitema.

Endabirwamu bwe zaayiise, omu yagguddewo n’atwala n’ensawo endala Kusasira gye yabadde tamuwadde omwabadde kaadi za bbanka eza ATM okuli eya Centenary ne DFCU.

Eggulo ku makya, Kusasira yategeezezza poliisi y’e Katwe gye yakoze sitetimenti nti, ababbi baatutte kaadi ya DFCU saako n’ennamba yaayo eya ‘PIN’ gy’akozesa okugya ssente ku ATM kubanga yabadde yaakagifuna nga n’akapapula kwe baagiwandiika kakyali mu nsawo era asuubira nti ezo ssente (teyazoogedde muwendo), zaggyiddwaako dda.

Mbega wa poliisi y’e Katwe, Martin Walimbwa yategeezezza nti, omukisa gwe balina gwa kunoonyereza nga bakozesa kaadi za bbanka ezo n’ebiwandiiko bya bbanka ebirala singa ababbi kanaabatanda ne bagendayo okugezaako okuggyayo ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....